n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu. 19 Awo Yusufu bba,kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yalialowooza okumulekayo kyama. 20 Laba bwe yali alowooza bw'atyo,malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti Yusufuomwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubangaolubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu. 21 Naye alizaala omwana wa bulenzi;naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu bemu bibi byabwe. 22 Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire Mukama byeyayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti, 23 Laba, omuwala atamanyi musajjaaliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lyeEmmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe. 24 Yusufu bweyazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira,n'atwala mukazi we, 25 so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaalaomwana: n'amutuuma erinnya lye YESU.Abagezigezi abaava ebuvanjuba2:1 Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya kumirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi, 2 nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwaKabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, netujja okumusinza. 3 Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, eran'ab'e Yerusaalemi bonna. 4 N'akuŋŋanya bakabona abakulu bonna,n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa? 5 Nabo ne bamugamba nti Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwekyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti 6 Naawe Besirekemu, ensi y Yuda,Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu ggwe,Alirunda abantu bange Isiraeri. 7 Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama,n'ababuuliriza nnyo ebiri emmunyeenye bye yaakamala okulabika. 8 N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende munoonye nayo,mulabe omwan bw'afaanana; naye bwe mumula banga, ne mujjamumbuulira nang ndyoke njije mmusinze. 9 Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba,