You are on page 1of 1

- Teri afuga sanyu lyo okujjako gwe, nolwekyo gwe olina amanyi agakyusa ekintu kyonna

ekikwatako nga nobulamu bwo mwobutwalidde


- Obuwanguzi sikyekisumulozo kyessanyu, naye essanyu kyekisumuluzo kyobuwanguzi.
bwoba nga oyagala kyokola manya nti ojja kuba muwanguzi
- Ekyobusika omuzadde kyayinza okuwa omwana kwe kumulaga engeri gyayinza
okweyimirizaawo kululwe yeka
- Togamba nti oyo omusajja oba omukazi mumanyi bulungi nnyo paka nga mumaze
okugabana ebyobusika naye awataali kiraamo
- Ekyobusika ekisinga omuzadde kyayinza okuwa omwanawe kwe kumufisizzawo
eddakiika buli lunaku
- Essente, amayumba nebyobugagga ebirara birungi nnyo naye ekisinga ekyobusika
omuzadde kyayinza okulekera abaana be kyekyokulabirako ekyokweyisa obulungi
- Abanafu bajjanga kusikira ensi, naye nga ebyogugagga byamu tebabirinaako buyinza.
- Abo abasikira ebyobugaga basanga ebizibu bingi buli kiseera okusinga banyinibyo
ababikolerera
- Ffe tusasulira ensobi za bajjajjafe era kisaana batulekere nga ku nsimbi ezokusasulira
ensobi zaabwe
- Bwoba oyagala abaana okutengerera munsi muno gwe teeka obuvunanyizibwa ku
bibegabega byabwe bajja kunyweera bulungi ku ttaka
- Abazadde baffe bo batuyigriza okwogera ate ensi yo netuyigiriza okusirika
- Ekitundu ekisooka ekyobulamu bwaffe kyononebwa bazadde baffe ate ekitundu
ekyokubiri nekyononebwa abaana betuzaala
- Katonda yawonya, omusawo ye natwaala ssente
- Omusajja omusiru essanyu alinonyeza wala ate omugezi alijja awo wenyini wali
- Bwoba toyagala kwonoona bulamu bwo, tozanyanga nabo abayonoona edda obulamu
bwabwe
- Ebintu bingi tugamba nti byewunyisa oba bisesa kasita bibera nga bituuse ku balala
- Ekyama ekyokubeera nobulamu obusanyusa kiri kimu, beerawo okutuusa lwonomanyira
obwo obulamu bwolimu
- Yagala nnyo abalabe bo, kubanga ekyo kijja kubasuula eddalu
- Buli lwolabanga nti buli kimu kitambula bulungi, omanyanga nti waliwo kyobusizza
amaaso
- Bwokuza abaanabo ngobayigiriza okukola buli kimu ekirungi ekiyinza okubayamba
munsi muno oba muwanguzi nga omuzadde era oba obawadde omukisa ogusingayo
- Bwotunurira enkaliriza mu bibatu byemikonogyo, ojja kulaba bazaddebo ne ba jjajjabo
nolwekyo gwe olina okutambuza obulamu bwabwe mungeri etebavumaganya

You might also like