Kyakuva ku ki Uganda N’ogyeroboza, n’ogaggawaza ensi eno N’ogiteekamu ebirungi byonna, Uganda ng’ogyagala nnyo!
Chorus: Ka nnyimbe nga nneebaza …… Katonda by’atuwa Ntendereze nga nneebaza-a ….Katonda Lugaba Ka nnyimbe nga nneebaza …….Tweyanziza Katonda waffe Uganda ng’ogyagala
1. Ngenda ne ntunuulira ebbaanga …… ne nneewuunya
N’ebibeera yo eyo mu bbanga ……. Ngenda ne ntunuulira ensozi ………. ne nneewuunya Katonda waffe Uganda ng’ogyagala nnyo Ngenda ne ntunuulira ennyanja ……. Ne nneewunya N’obugagga bw’omwo mu nnyanja ….. N’abatambula okwo ku nnyanja …….. ne nneewuunya Katonda waffe Uganda ng’ogyagala nnyo