You are on page 1of 10

335/2

LUGANDA
Paper 2
Jan - Feb, 2021
2 ½ hours`

UGANDA MUSLIM TEACHERS ASSOCIATION


UMTA RESOURCE PAPERS – 2021
UGANDA CERTIFICATE OF EDUCATION
LUGANDA
Paper 2
(Okusoma Bwino, Ebyobuwangwa ne Litulica)

Olupapula olwokubiri

Essaawa bbiri N’ekitundu

EBIGOBERERWA:

- Olupapula luno lulimu ebitundu bisatu; A, B, C.

- Ddamu ebibuuzo bitaano (05) awamu.

- Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu A ne B.

- Mu kitundu C, ddamu ebibuuzo bisatu (3) byokka

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 1 of 10


EKITUNDU A

1. Soma ekitundu kino n’oluvannyma oddemu ebibuuzo ku nkomerero yaakyo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti;


Obukulembeze obw’ennono bulina okweyambisibwa okutumbula
enkulaakulana mu Ggwanga olw’okubeera okumpi n’abantu era awa
amagezi Uganda etandike okulowooza ku ky’okuwa abaana ebbeetu
ly’okuyiiya n’’okukozesa ebitone.
Waliwo ebintu ebitali bimu ebikoleddwa obwakabaka okutumbula
ebyenjigiriza nga okukubiriza abantu okusoosowaaza ebyenjigiriza ku
mitendera gyonna. Kabaka atandiseewo amasomero agatali gamu olwo
abantu ne bagendamu ne babangulwa, abantu banji bakubiriziddwa
okuweerera abaana baabwe nga ky’ekimu ku by’obugagga omuzadde
ky’ayinza okumulekera okusobola okubeera obulungi mu nsi, abaana bangi
bayambiddwa Kabaka Education Fund era basomye ne bakuba n’emisomo
gyabwe oluku mu mutwe.

Ku by’obulamu, era obwakabaka bukoze kinene okusookera ddala mu


kaweefube w’okutangira abantu endwadde era kino okirabira mu Kabaka
okubeera emmunyeenye y’ekitongole ky’Amawanga Amagatte mu
kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.

Singa Kabaka taliiwo tetwandibadde na misinde mubunabyalo. Emisinde


gino givuddemu okutumbula eby’obulamu okuli okulwanyisa okutonnya mu
bakyala n’obulwadde bwa nnalubiri.
Waliwo okukubiriza Nnaabagereka kw’akola eri abaana abawala obutafuna
mbuto nga tebanneetuuka kibasobozese okwewala endwadde, byonna
bisoboka kubanga Obwakabaka weebuli.

Mayiga agamba, obukulembeze buno obw’ennono kitegeeza Ssaabasajja


Kabaka okutuukira ddala ku mukulembeze esembayo mu nteekateeka
y’Obwakabaka.

Kabaka agonjodde enkaayana mu bika bingi, Emyaka mitono egiyise


agonjodde emigozoobano mu kkobe, Engeye, Nakinsinge, Envubu, okulaba
ng’ebika binywera okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabyo.

Omulamuzi Ssekaana yalamudde bulungi mu musango gw’ekika ky’Ekkobe


bwe yawadde abantu amagezi nti ensonga z’emisango gy’ebika girina

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 2 of 10


kusalibwa Kabaka kubanga ensonga z’ebika mu nnono zaffe Kabaka
y’azimala era omuntu bw’ayawukana ku ntereeza eyo abeera afuuse kaasa
ayawukanye ku mugendo!

Ekyo kye tukubiriza abantu bonna. Kabaka yalagira buli kika kibeere
n’embuga esala emisango munda mu kyo eyo bweremwa ng’ogenda mu
ddiiro lya Katikkiro – Kkooti ya Kisekwa, bw’ova eyo ng’ogenda ewa Kabaka
bwe gukumegga ng’ojulira gy’ali osanga yejjulula. Eyo y’entereeza gye tulina
mu nnono ya Buganda.

Ebika bisaanye okubeera n’obukulembeze. Nga birina Katikkiro n’akakiiko


akafuzi ak’amaanyi. Birina okubeera n’ebiwandiiko awamu n’enteekateeka
ez’okugenda mu maaso omuli n’okulambula abazzukulu.

Singa obutaka bw’ebika bulambulwa Kabaka, kiwaliriza abazzukulu nabo


okuddamu okulamaga, kinyweza obumu, kikuuma ettaka ly’ebika ebyo anti
abazzukulu bamanya nti obwo bwe butaka bw’ekika ekyo. Kireetayo
enkulaakulana mu butaka olw’okuba nti Kabaka gy’alambudde
bateekateekayo bulungi nga n’ekisinga obukulu kyongera okuggumiza
obukulu bw’ebika anti Buganda erukibwa bika.

(Bisimbuddwa mu: Bukedde, Lwakusatu, July 31, 2019)

Ebibuuzo;

(a) Obukulembeze obw’ennono kye ki? (obubonero 02)

(b) Lwaki Kabaka alambula obutaka bw’Ekika? (obubonero 05)

(c) Nyonnyola ebintu ebiraga nti obwkabaka butumbudde eby’obulamu.


Obubonero 03)

(d) Obwakabaka butumbudde butya eby’enjigiriza mu Ggwanga?


(obubonero 04)

(e) Omuwandiisi bintu ki by’akonyeeko ebyandikoleddwa Ebika okusobola


(okwezimba? (obubonero 03)

(f) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe byeyambisiddwa mu


ktundu ky’osomye. (obubonero 04)

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 3 of 10


(i) – ebbeetu
(ii) –w’okutangira
(iii) -Emigozoobano.

Ku buli kibuuzo okuva ku (g) – (j) koppolola ekisingako obutuufu.


(obubonero 04)

(g) Obukulu bwa Kabaka bweyolese butya?

(i)Y’amala ensonga z;ebika mu nnono z’affe.

(ii) Ye mukulembeze asembayo mu nteekateeka y’ebika byaffe.

(iii) Azimbye amasomero agawerako.

(iv)Buli kika kirina okubeera ne Kabaka waakyo.

(h) Ebika ebikooneddwako mu kitundu kino biri;


(i)Bisatu (03)

(ii) Bina (04)

(iii)Bitaano (05)

(iv) Bisukka mu bitaano.

(i) Buli kika kyandibadde n’e;

(i)Kkooti ya Kisekwa omusalirwa emisango.

(ii)Ddiiro lya Katikkiro omusalirwa emisango

(iii)Mbuga esala emisango

(iv) Kifo Kabaka watuula okuwuliriza emisango.

(j) Amagezi Katikkiro g’awa eggwanga lye..................

(i) Ga kubeera bawulize eri ebika byabwe


(ii) Kwewa kitiibwa
(iii) Kukkiririza mu bukulembeze obw’ennono
(iv) Bakulembeze kweyambisa bukulembeze obw’ennono okutwala
eggwanga mu maaso.

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 4 of 10


EKITUNDU B

Kola nnamba 2(a) ne 2(b)


2 (a) Maliriza engero zino wammanga. (obubonero 10)

(i) Omukisa mpewo......................................................................................

(ii) Omukwano butiko......................................................................................

(iii) Maddu ga ddenge.........................................................................................

(iv) .........................................................................................tezirwa.

(v) ............................................................................................bikoonagana.

(vi) Ebibuuka bitalagaanye.............................................................................

(vii) Amansonyinsonyi..........................................................................................

(viii) .............................................................................k’ekomberera

(ix) ................................................................................afa tatuuse ku buko.

(x) Omusango omukadde.............................................................................

(b) Nyonnyola amakulu g’engero zino wammanga. (obubonero 05)

(i) Sserukama mayute, bwe bakwataku lirye ng’awoloma.

(ii) Nnannyini mufu y’akwata awawunya.

(iii) Omuntu bw’alya ennyo tekitegeeza kukkuta n’okimala.


(iv) “Gunsinze “ aliwa bitono.
(v) Eyeekaliriza y’ayiga.

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 5 of 10


EKITUNDU C
Ddamu ebibuuzo bisatu (03 ) byokka ng’obiggya mu butabo obw’enjawulo
akamu ku bwo nga ka bitontome. Toddamu bibuuzo bisukka kimu ku buli
katabo.

Ssali Damascus: Obuwoomi Bw’ekitontome.

Ddamu 3(a) oba e(b)

3 (a) Soma ekitontome kino n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku nkomerero


yaakyo.

ENVIIRI
1 Ssebo Lugaba Ddunda Nnamugereko,
Kankulopere ebingi ennyo bye bankola,
Nze mbonyeebonye n’ensi yo gye wantuma,
Bankuluusanya ng’eyatta Kulisito.

2. Bakazi banjokya banzinga obuteddiza,


Mmettebwa ezzigo eringi eriwunya okufa,
Basajja bansala bansaawa obuteddiza,
Ne banjuzaayuza kumpi kuggwa ku mutwe.

3 Basawo bansala nga ssanja mbu basibe,


Ebiwundu ebigoojedde ebingi ku mutwe,
Lwaki tebandeka nange ne mbibikkako;
Oluusi tomanya nange ne mponya omutwe

4 Basajja n’agakoofiira gantama okufa,


Bakazi n’obutambaala bambuza otulo
Abamu bannumya ensekere abandi ba biku,
Abatanaaba bangi nnyo banzisa olusu

5 Nkooye obuwalula enfaafa okunsikambula.


Nkooyte ebisitula ebisika nkutuse nkoye
Nze ninayo ne bannange bangi ku mutwe.
Bisige n’enkowe simanyi nabob we bali!

6 Oluusi bwe nkula nfuuka langi ya kivu,


Eyoleka ekitiibwa n’obwongo mu mutwe
Olw’obutamanya bangi bankuba obutwa,
Obwa zzigizzigi mbu bubazze mu buto.
7 Ddunda kye nsaba onnyambe bakube oluyi,
Naddala abo abanfumba ng’emmere okulya
Nkoye okufuuyirwa langi waakiri okufa
Naye lugaba taata saasira ojune

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 6 of 10


Ebibuuzo:
(i) Ani atontoma mu kitontome kino? (Akabonero 1)

(ii) Lwaki omutontomi si mumative? (obubonero 7)

(iii) Ekitontome kino kisengekeddwa kitya? (obubonero 6)

(iv) Birungo bya ngeri ki ebireetedde ekitontome kino okunyuma?


(obubonero 6)

OBA

(b) Nga weeyambisa ebyokulabirako okuva mu bitontome eby’enjawulo,


nyonnyola omusomi byaganyulwa mu kitabo “obuwoomi bw’ebitontome”.
(Obubonero 20)

Namaganda A. Janet: Ebitontome Ebiseeneekerevu

Kola 4(a) oba 4(b)

4. (a) Soma ekitontome kino wammanga n’oluvannyuma oddemu ebibuuzo ku


nkomerero yaakyo.

NAMAGANDA

Ab’e Busujju mwesiimye ka mbatendere

Namaganda bannange nga muwulize


Ekisa ekitiirika n’okuluŋŋamya
Mukozi ate wa maanyi era tatendeka
Omusawo w’obwongo atayogereka
Mwana wa mpisa
Omuwulize
Abeera muyonjo
Ate nga muteefu

Muzinyi nnakinku, ayimbisa kawoowo


Atambula bulungi, yakula bulungi
Mutetenkanya nnyo, talulunkana,
Ye muzzaŋŋanda, ye nnakazadde
Mwana wa mpisa
Omuwulize
Abeera muyonjo
Ate nga muteeru

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 7 of 10


Ebyamunsiimya, byankyaya abalala
Oli muteendeke akira kakensa
Abalala bonna abo abakubya kaga
Twebaze Katonda eyatuwa ekkula lino
Mwana wa mpisa
Omuwulize
Abeera muyonjo
Ate nga muteefu.

Muntu muyivu nno nnyo era musawo


Musawo Muganda nnyo kuba wa ngabi
Mufumbo wa kitiibwa nnyo era wa mbala
Ayagaliza Abalala era wa nkizo
Mwana wa mpisa
Omuwulize
Abeera muyonjo
Ate nga muteefu

Ab’e Busujju mwesiimye ka mbatendere


Namaganda bannange nga muwulize
Ekisa ekitiirika n’okuluŋŋamya
Mukozi ate wa maanyi era tetendeka
Mwana wa mpisa
Omuwulize
Abeera muyonjoAte nga muteefu

(Ekirabo ekyampeebwa omwami wange ku mbaga yaffe)

Ebibuuzo:

(i) Lwaki omutontomi agenze addiriŋŋana ennyiriri ennya ezisemba ku


buli sitanza? (obubonero 05)

(ii) Ekitontome kizimbiddwa kitya? (obubonero 06)

(iii) Olowooza lwaki ab’e Busujju b’esiimye olwa Namaganda?

(obubonero. 06)

(iv) Nyonnyola amakulu g’ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa mu


kitontome. (obubonero 03)

- Nnakinku
- Ekkula
- Ekitiirika

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 8 of 10


OBA
(b) Namaganda Alice Janat atutontomera bulungi ku bulamu bwaffe obwa
buylijjo. Kakasa n’ebyokulabirako.
(obubonero 20)

Waalabyeki Magoba : Mbayiwa ow’abayizi .


Kola 5(a) oba 5(b)

5. (a) Naye owange, omulenzi omulungi nga ggwe, ekyo ekiwala kikibijjigiri
ekikutuza n’endiga ku ttale wakyegombako ki?

(i) Ani ayogera ebigambo ebyo era abyogera kw’ani?


(obubonero 02)
(ii) Mu bumpimpi, nnyonnyola ebituusa omwogezi ku bigambo ebyo.
(obubonero 04)

(iii) Obulungi bw’omugambwa bweyolese butya mu lugero lwonna?


(obubonero 07)

(iv) Lwaki omugambwa afiira ku Kibijjigiri? (obubonero 07)

OBA
5 (b) Omuwandiisi w’olugero “Mbayiwa ow’abayizi yeeyambisizza bukodyoki
okutuukirizisa ebyo byawandiikako? (obubonero 20)

Ruth N. Kaboggoza: Amaggwa N’emitego mu Buvubuka.

Kola nnamba 6(a) oba (b)

6. (a) “Mimindyo Asirikale mwenye anafunga school yi.


Saasa ni siyidiye nini. .......’ taata oluswayiri sikwasizaamu ddala”.

(i) Baani aboogerazeganya mu mboozi eyo? (obubonero 02)

(ii)Kiki ekikulembera emboozi eyo? (obubonero 08)

(iii)Biki ebiddirira oluvannyuma? (Obubonero 10)

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 9 of 10


OBA

6 (b)Nga weeyambisa ebyokulabirako okuva mu katabo, laga abantu


ab’enjawulo abaliko ebirungi bye bakola mu bulamu bwa Cissy era
onyonnyole ebyo bye bamukolera.

(Obubonero 20)

Prisca Nakitto: Nze Mbimaze.

Kola 7(a) oba 7(b)

7 (a) “Ssebo, ggwe walanga akagaali akasaawa omuddo, tukutte ababbi,


twagala okumanya oba kano ke kagaali ko”

(i) Ani ayogera ebigambo ebyo? (Akabonero 01)

(ii) Abigamba ani? (Akabonero 01)

(ii) Ebigambo ebyo bisimbuddwa mu kitundu ki eky’omuzannyo?


(Obubonero 02)
(iii) Ng’oggyeko eky’okubba akaggali eky’ogerwako, leeta ebikolwa ebirala
eby’ekko mu muzannyo omuwandiisi by’avumirira.
(obubonero 16)

OBA

(b) Nyonnyola empagi enkulu omuwandiisi w’omuzannyo guno ze


yagenderera okutuusa eri abasomi /abalabi baagwo. (obubonero 20)

BIKOMYE WANO

© UMTA RESOURCE PAPERS 2021 Page 10 of 10

You might also like