You are on page 1of 1

COMMUNION: NKWEGOMBA

1. Nkwagala n’omutima gwange gwe nkwegomba nyo nze,


Nnegomba okutuuka wooli nkwegomba nyo nze (Mukama)

Chorus
Nkwegomba n’omutima gwange Mukama wange ondi wala
Nnegomba okubeera naawe, nkutuukeko gy’obeera

2. Nga ettaka eddungi bwerikala awatali mazzi


Mbeera mu kukaaba mukudaaga gwe wotoli Mukama (Mukama)

3. Nnegomba okukulaba gwe nze mpumule omwoyo


Mukama oli mulungi wanjagala, wanganza nnyo nze (Mukama)

4. Omukwano gwo nze gunkilira obugagga bwensi eno


Era ombera ku mutima wanganza, nkwegomba nyo nze (Mukama)

5. Ndaba obuyinza bwo nze n’amanyi, mu by’onkolera ebingi


Nsiima nyo nze Mukama wange otenderezebwe nga (Mukama)

You might also like