You are on page 1of 1

GGWE NSAASIRA

Ggwe nsaasira ayi Mukama


Nze naazako ebibi byange

1. Neevuddemu ayi Mukama;


Nenkowola ggwe onyambeko
Eyo ewuwo ayi Mukama;
Newsungayo obusaasizi.

2. Njazirana nkaaba mpanjaga;


Nenkusaba ggwe onyambeko;
Ggwe omujunyi ggwe nno owekisa;
Ggwe tondeka nze ey’enenya.

3. Ggunsinze nnyo nze newaggula;


Nenkwejjako ng’ankujeemera;
Kati nsaba kudda neemwnye;
Nze nkomyewo nze omwana wo.

4. Ndi munafu bingi bi nnema;


Nenswala nnyo nze mu maaso go;
Kati nsaba Taata saasira;
Nze nkomyewo nze omwana wo

5. Omwanawo Yezu Omwagalwa;


Mpise mu ye okuwanjaga;
Omutemu oli eyemenya;
Yamujuna olwo lw’eyeneenya.

6. Omwanawo ggwe wamutuwa;


Oyo ajjawo ebibi byensi;
Akaliga anti akattibwa;
Okujjawp ebibi byensi.

7. Njakufuba nzuuno neeyama;


Kunyikira obutasobya;
Ebyo ddala ebingi ebyasoba;
Mbisudde eri nze nkusimbyeko

8. Neesunga nnyo ayi Mukama;


Nkutuukeko mu kitiibwa kyo;
Eyo ewuwo ayi Mukama;
Ontuseyo mu balondemu

You might also like