You are on page 1of 6

1

P360/1

LUGANDA

PAPER 1

DECEMBER 2020

2 ½ HOURS

JINJA JOINT EXAMINATIONS BOARD

UGANDA ADVANCED CERTIFICATE OF EDUCATION

LUGANDA

DECEMBER 2020

AMATEEKA N’ENKOZESA Y’OLULIMI, OBUWANGWA


N’ABAWANDIISI.

OLUPAPPULA OLUSOOKA

ESSAAWA BBIRI N’EKITUNDU

EBIGOBERERWA:

- Olupappula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu A, B ne C.


- Ekitundu A kya buwaze.
- Mu kitundu B kola nnamba 2, 3 ne 4, oweereddwa eby’okulondako
by’oyagala okuddamu.
- Mu kitundu C ggyamu ekibuuzo kimu (1) ng’okironda ku bikuweereddwa.

@ 2020 Jinja Joint Examinations Board Bikomye wano


2

EKITUNDU A

1. (a) Sentensi zino wammanga zizze mu kiseera ekirijja era osaze


n’omusittale ku kabonero k’ekiseera. (Obubonero 5)
(i) Ozadde abaana bameka?
(ii) Ensonyi ozifuula otya obusungu?
(iii) Kaamulali mu mulya nnyo nammwe!
(iv) Otugamba tutuule tutya?
(b) Sentensi zino wammanga ddamu oziwandiike nga ziri mu bungi.

(Obubonero 4)

(i) Olya omugoyo ekiro

(ii) Ettaka kintu kikulu nnyo

(iii) Ekituufu eddagala lyo ndyagala

(iv) Kasobola okuwuga mu mazzi ago?

(c) Ddamu owandiike sentensi zino wammanga nga ebikolwa


ebirimu obijjuludde era obisazeeko omusittale

(i) Siba mangu embuzi zange

(ii) Omwana wamuzaala mangu nnyo.

(iii) Ebintu byo bigattegatte bulungi.

(iv) Osobola okusaanika emmere ennyingi?

(d) Golola ensobi ezikoleddwa mu mpandiika mu sentensi zino.

(Obubonero 4)

(i) Kw’ezo oyagala ko mmeka?

(ii) Ekkwaano nga libatta bulala

(iii) Mwami Kizza tumusanze wano

@ 2020 Jinja Joint Examinations Board Bikomye wano


3

(iv) Maama wange afumba nnyo ennyama

(e) (i) Laga enjawulo y’ebikolwa bino wammanga mu lukalala A ne


B. (Obubnero 2)

Olukalala A Olukalala B

Okwebaka Okusamba

Okufa Okubaaga

Okukula Okusaba

(ii) Ebikolwa ebyo waggulu bikozese mu ssentensi, buli kimu mu


sentensi yaakyo nga olaga enjawulo gy’oyogeddeko.

(Obubonero 6)

(f) Jjuza amabanga agalekeddwa mu lukangaga luno wammanga.

(Obubonero 10)

Olubu Empeerezi Nnakasigirwa Nnakasiba


esooka entaba luganda
enkozi
1mu
9N
11Lu O
O Obu--
(g) Emiwendo gino giwandiike mu bigambo

(i) 1012

(ii) 5998

(iii) 4554

(iv) 18015

@ 2020 Jinja Joint Examinations Board Bikomye wano


4

(v) 2022

EKITUNDU B

Kola nnamba 2(a) oba 2(b)

2. (a) Abaganda baalugera nti okuzaala kujaagaana. Nnyonnyo ngeri


obuwangwa bw’Abaganda gyebuwaliriza omuko okuweera
ab’ewaabwe w’omukazi. (Obubonero 20)

Oba
(b) Nnyonnyola bulungi kumpisa y’Abaganda ey’okujjulula omufu
okumuziika mu kifo ekirala. (Obubonero 20)

Kola 3 (a) ne 3 (b)

3. (a) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bisatu (3) onnyonnyole


amakulu gaabyo agoomunda. (Obubonero 6)
(i) Okumira ekintu obukago.
(ii) Okwezesa ekintu olweyo.
(iii) Okubeera mufumbya gganda.
(iv) Okuteeka nga ga lubigi.
(v) Okubeera mu kawome.
(b) Ku bisoko bino ebikuweereddwa londako bibiri (2) obikozese mu
sentensi eziggyayo amakulu gaabyo agoomunda.
(Obubonero 4)

(i) Okukyusa obuwufu


(ii) Omuntu okwebakira ebiro ebiwera
(iii) Okukubya essubi
(iv) Okukuba endeka mwoyo

Kola 4(a) ne 4(b)

@ 2020 Jinja Joint Examinations Board Bikomye wano


5

4. (a) Maliriza engero bbiri kuzikuweereddwa nga bwezoogerebwa mu


Luganda. (Obubonero 4)
(i) Baana na baana………
(ii) Ebigambo bya kuno tebyekweka……..
(iii) ………………nga ne nnyoko akuzaala waali

(b) Nnyonnyola amakulu g’engero agoomunda ssatu (3) ku zino


ezikuweereddwa. (Obubonero 6)
(i) Egindi wala nga tekuli mu manyi
(ii) Emmeeme gy’esula ebigere gy’ebikeera
(iii) Omukwano gw’abato gufa nseko
(iv) Awagumba ennume n’enduusi
(v) Omukazi akunoba n’atakulaasa
EKINTUNDU C

Ddamu ekibuuzo kimu kyokka okuva mu kitundu kin


ong’okiggyamu 5, 6 oba 7

Kola 5(a) oba 5(b)

5. (a) F.M Masagazi abasomi be aba Mpaawo Kitakya abasibirira ntanda


ki ng’ayita mu bitontome bye ebyo? (Obubonero 20)

Oba
(b) Sirya ayolesa mubiri, ebiwandiiko bya F.M. Masagazi bitwoleka
bitya ekyo ky’ali?

Kola 6(a) oba 6(b)

6. (a) Andrew Kibuuka Ddamba yeeyolese atya nga omumanyi


w’ebyobuwangwa byeggwanga lye ng’ayita mu kitabo kye Awo
olwatuuka? (Obubonero 20)

(b) Obuweereza bwa Andrew Ddamba Kibuuka busoomooza butya


omuvubuka wa leero? (Obubonero 20)

@ 2020 Jinja Joint Examinations Board Bikomye wano


6

Ddamu 7(a) oba 7(b)

7. (a) Omuwandiisi Cranmer Kalinda atukyayisizza banna byabufuzi


bawano n’akunakkuna. Nga weesigama ku kimu kubitabo bye laga
engeri kino gy’akikozeemu. (Obubonero 20)

Oba
(b) Cranmer Kalinda yalina kigendererwa ki mu kutuwandiikira
ekitabo kye Bazibumbira? (Obubonero 20).

@ 2020 Jinja Joint Examinations Board Bikomye wano

You might also like