You are on page 1of 7

AMASOMO G’EMBAGA MU LUGANDA

Essomo Erisooka
Babeerebabiri mu mubiri gumu
Bye tusoma mu kitaboky’amasooka 2:18-24
Omukama Katonda n’agamba nti, sikirungi omuntu okubeera yekka. Kamukolere omuyambi.
Awo, Omukama Katonda yakola ebisolo byonna eby’ettale n’ennyonnyi ez’eggulu ng’abiggya
muttaka nabireetera omuntu alabe ky’anabiyita, buli kimu kyali kyakubeera n’erinnya omuntu
lye yandikituumye. Omuntu n’atuuma amannya ennyonyi n’ebisolo byonna eby’ettale. Naye
teewaali muyambi asaaniramuntu. Bwekityo Mukama Katonda, yeebasa omuntu otulo otungi
n’amugyamu olumu kumbiriizize n’azzaawo omubiri. Omukama Katonda olubiriizi lwe yali
aggye mu musajja n’akolamu omukazi n’amuleteera omusajja. Omusajja n’aleekaana nti: otyo
lino ly’eggumba erivudde mu magumba gange era y’ennyama evudde mu nnyama yange. Ono
anaayitibwa nga mukazi kubanga ono aggyiddwa mu musajja ky’ava alireka kitaawe ne nnyina,
ne yeetaba ne mukazzi we ne bafuuka omubiri gumu.
Ebyo Omukama y’abyogera

ESSOMO I

Ng'enjuba evaayo ku nsozi z'Omukama, obulungi bw'omukazi omulungi bwe buba mu nju
erabirirwa obulungi.

Bye tusoma mu kitabo kya Siraki 26, 1-4. 16-21


Yeesiimye bba w'omukazi omulungi ddala, ennaku z'obularnu bwe ziryeyongera emirundi
ebiri.Omukazi omutuufu lye ssanyu Iya bba, alimala emyaka gy'obulamu bwe mu
ddembe.Omukazi omulungi y'asingira ddala mu migabo emiterekere abo abatya
Omukama.Ne mu bugagga ne mu bwavu baliba basanyufu mu mutima, basanyufu ku
maaso buli bbanga Iyonna.
Empisa ennungi ez'omukazi zirisanyusa bba. Ebikolwa bye birimufuula wa maanyi
okusingawo. Omukazi omusirise kye kirabo ekiva eri Omukama, tiwali muwendo guyinza
kussibwa ku mbeera egunjuddwa obulungi.Omukazi omuwombeefu kye kirabo
eky'emirundi ebiri, embeera y'obutukuvu teyinza kupimibwa ku minzaani.Ng'enjuba
evaayo ku nsozi z'Omukarna, obulungi bw'omukazi omulungi bwe buba mu nju erabirirwa
obulungi.Ebyo Omukama y'abyogera.

ESSOMO II
Eky'amagero kino kikulu, anti ntegeeza kino ekya Kristu n'ekeiezia.

Bye tusoma mu bbaluwa Paulo Omutume gye yawandiikira ab'e Efezi 5, 2a. 21-33.
Ab'oluganda, mu bulamu bwammwe mwagalanenga, nga mulabira ku Kristu nga bwe
yatwagala ne yeewaayo okubeera ffe.
Buli omu agondere munne mu kutya Kristu, Abakazi bawulirenga babbaabwe nga bwe
bawulira Omukama, Kubanga omusajja gwe mutwe gw'omukazi nga Kristu bw'ali omutwe
gw'Eklezia; yennyini ye Mulokozi w'Omubiri gwe.Era ng'Eklezia bw'atwalibwa Kristu,
n'abakazi bwe batyo batwalibwenga babbaabwe mu byonna. Abasajja mwagalenga bakazi
bammwe, era nga Kristu bwe yayagala Eklezia ne yeewaayo okubeera ye okumutukuza
ng'amunaaza n'amazzi ko n'ekigambo ky'obulamu, alyoke yeefunire Eklezia ow'ekitiibwa,
ataliiko bbala na kamogo newandibadde akantu akalala ak'engeri eyo: naye abeere
mutukuvu nga taliiko kasobye. N'abasajja bwe balagirwa okwagalanga bwe batyo bakazi
baabwe,
kyenkana ng'emibiri gyabwe.Ayagala mukazi we nga yeeyagadde yennyini. Kubanga edda
n'edda Iyonna tiwabanga akyawa mubiri gwe; naye aguliisa, agujjanjaba, nga Kristu
bw'alyowa Eklezia.
Anti ffe tuli bitundu bya mubiri gwe, bya nnyama ye, bya magumba ge. Omuntu ky'aliva
aleka kitaawe ne nnyina n'anyweerera ku mukazi we ne babeera bombi mu mubiri gumu.
Eky'amagero kino kikulu: anti ntegeeza kino ekya Kristu n'Eklezia. Kale buli muntu mu
mmwe ayagalenga mukazi we nga ye bwe yeeyagala; naye omukazi atyenga bba.
Ebyo Omukama y'abyogera.

EVANJIRI

Tebakyali babiri, wabula mubiri gumu


Ebigambo by’Evanjiri ya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Mariko 10,6-9

Mu budde buli Yezu yagamba nti: olubereberye katonda ng’atonda, yakola omusajja nomukazi.
Olwekyo, omusajja alekanga kitaawe ne nyina babiri babiri nefuuka mubiri gumu. Olwo nga
tebakyaali babiri, wabula muburi. Awo nno katonda kye yagatta omuntu takyawukanyanga
Ebyo omukama y’abyogere.

ESSOMO ERISOOKA

Ffembi otuwangaaze, tutuuke ku bukadde obw’egombebwa.

Bye tusoma mu Kitabo kya Tobi 8:5-10

Embaga ey’obugole ng’ewedde, Tobiya yagamba Sara nti: Mwannyinaze yimuka. Ggwe nange
tuteekwa okwegayirira, tusabe Mukama waffe, tufune enneema ye era ye atukuume. Saara,
n’ayimirira, bombi ne bessa mu kwegayirira, nga basaba okukuumibwa.

Yasooka bwati: Ayi Mukama wa bajjajjaffe, oli wa Kitiibwa, n’erinnya lyo lya
kitiibwa,ligulumizibwe emirembe gyonna. Eggulu likugulumize, n’ebintu byonna bye wakola
emirembe gyonna. Ggwe watonda Adam ne Eva, mukyala we, abeere muyambi we n’omukuumi
we, mu abo bombi ne muzaalukukamu olulyo lw’abantu.

Ggwe wagamba nti: Sikirungi omuntu okuba yekka, tumukolere omuyambi amufaanana. Awo
nno kati, nze okutwaala mwannyinaze oyo, sigenderera kugobereramu maddu, kino nkikoze
n’omutima omulongoofu. Mukwatirwe nno ekisa, omusaasire, era nange onsaasire, ffembi
otuwangaaze tutuuke ku bukadder obwegombebwa. Bombi ne bagamba nti: Amiina, amiina.

Ebyo omukamay’abyogera.

ESSOMU OLY’OKUBIRI

Okwagala kye kifundikwa ky’obutukirivu


Bye tusoma mu bbaluwa Paulo omutume gyeyawandikira ab’ekolossi
b 3:12-17
Ab’oluganda, mwe Katonda be yalonda abatuukirivu, ate abaganzi, ekyambalo kyammwe:
omugonvu, ogusaasira, obwetowaze, ekisa, obugumiikiriza, mulekeragane, era musonyiwagane
nga wabaddewo alina ekigambo kumunne. Ng’omukama bwe yabasonyiwa, nammwe
bwemubamukola. Ekyambalo ekisembayo kungulu kibe kwagalana; kyekifundikwa
ky’obutuukirivu eddembe lya Kristu Libe mu mitima gyammwe: anti ekyo
kyekyabakungaanyisiza awamu ng’ebitundu by’omubiri ogumu, mwebazenga bulijjo. Ekigambo
kya Kristu mu bugaggabwakyo bwonna, kibukale mu mmwe. Buli omu ayigirize munne,
abuulirire munne, mu magezi gonna. Mwebaze mu mitima gyammwe, muyimbire Katonda
zabulin’ebitontome ebibafuuyiriddwa.Timubangako kyemwogera yadde kyemukola, wabula mu
linnya lya Mukama Yezu.Mwebaze Katonda ngamuyita mu ye.
Ebyo Omukama y’abyogera

ESSOMU OLY’OKUBIRI:

Okwagala kye kifundikwa ky’obutukirivu


Bye tusoma mu bbaluwa Paulo omutume gyeyawandikira ab’ekolossi
b 3:12-17
Ab’oluganda, mwe Katonda be yalonda abatuukirivu, ate abaganzi, ekyambalo kyammwe:
omugonvu, ogusaasira, obwetowaze, ekisa, obugumiikiriza, mulekeragane, era musonyiwagane
nga wabaddewo alina ekigambo kumunne. Ng’omukama bwe yabasonyiwa, nammwe
bwemubamukola. Ekyambalo ekisembayo kungulu kibe kwagalana; kyekifundikwa
ky’obutuukirivu eddembe lya Kristu Libe mu mitima gyammwe: anti ekyo
kyekyabakungaanyisiza awamu ng’ebitundu by’omubiri ogumu, mwebazenga bulijjo. Ekigambo
kya Kristu mu bugaggabwakyo bwonna, kibukale mu mmwe. Buli omu ayigirize munne,
abuulirire munne, mu magezi gonna. Mwebaze mu mitima gyammwe, muyimbire Katonda
zabulin’ebitontome ebibafuuyiriddwa.Timubangako kyemwogera yadde kyemukola, wabula mu
linnya lya Mukama Yezu.Mwebaze Katonda ngamuyita mu ye.
Ebyo Omukama y’abyogera
ESSOMO ERY’OKUBIRI:

Empisa mu maka
By’etusoma mu bbaluwa paulo omutume gy’ewandiikira ab’e efezi (5: 21-33)
Buli omu agonderenga munne mu kutya Kristu. Abakazi mugonderenga
babbammwe nga bwe mugondera Omukama. Kubanga omusajja gwe
mutwe gw’omukazi nga Kristu bw’ali omutwe gw’Ekleziya, omubiri gwe
era yennyini Omulokozi waagwo. Era ng’Eklezia bw’agondera Kristu,
n’abakazi bwe batyo bagonderenga babbaabwe mu byonna. Abasajja,
mwagalenga bakazi bammwe, nga Kristu bwe yayagala Ekleziya ne yeewaayo
okubeera ye, alyoke amutukuze ng’amulongoosa mu kunaazibwa mu mazzi
n’ekigambo, alyoke mu kitiibwa yessizzeewo mu maaso ge Ekleziya ataliiko
musango na lukanyanya newandibadde akantu akalala ak’engeri eyo, alyoke
abeere mutukuvu nga taliiko kasobye. N’abasajja bwe balagirwa okwagalanga
bwe batyo bakazi baabwe kyenkana ng’emibiri gyabwe gyennyini. Anti ayagala
mukazi we nga yeeyagadde yennyini. Kubanga tewabanga akyawa mubiri gwe,
naye aguliisa, n’agulabirira, nga Kristu bw’alyowa Ekleziya, Kubanga tuli bitundu
bya mubiri gwe. Olwe’kyo omusajja kyaliva alirekanga kitaawe ne nnyina, ne
yeegatta ku mukazi we; ababiri balifuuka omubiri gumu. E Kyama kino kikulu, nze
mu kyo ntegeezaamu Kristu n’Ekleziya. Kale buli muntu mu mmwe ayagalenga
mukazi we nga ye bwe yeeyagala yennyini, n’omukazi atyenga bba.
Ebyo Omukama y’abyogera
Essomo Ery’okubiri:
Singa sirina kwagala, siba kantu.Bye tusoma mu bbaluwa essoka Paulo omutume gye
yawandiikira ab’e Korinti. (1 Korinti 12, 31-13,8a)

Ab’oluganda, mu byonna muluubirire ebitone ebisingira ddala.Kale ka mbalage ekkubo erisinga


byonna.Ssinga njogera ennimi abantu ne bamalayika ze boogera, sso nga ssirina kwagala, mba
ng’ekide ekivuga, oba ng’ensaazo ezisaala. Ne bwemba n’obuyinza obw’okulanga ebirijja, ne
mmanya buli bya magero bya Katonda na buli bya magezi byonna; ne bwendiba n’okukkiriza
kwonna ne nsigula n’ensozi: sso nga sirina kwagala siba kantu.
Ebyange byonna ne bwe mbimalila mu kuliisa aboolo, ne bwe ndiwaayo omubiri gwange ne
nsiriira, sso nga sirina kwagala, sirifuna mugaso.

Okwagala kugumiikiriza, kwa kisa; okwagala tikukwatibwa buggya, tikukola bitagasa,


tikwepanka, tikunoonya kitiibwa, tikugoberera byakwo, tikusunguwala, tikulowooza bubi,
tikusanyukira bubi, naye kussanyukira mazima; kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira
byonna, kuwangula byonna.

Ebyo Omukama y’abyogera.

ESSOMO ERYOKUBIIRI

Okuba ab’omubiri ogumu

Bye tusoma mu kitaboky’Ab’efezi 4:1-6

Nze eyasibibwa olwa Mukama, kyenva mbeegayirira mmwe mube n’empisa ezisaanira obulamau
bwe mwayitirwa. Mube bakkakkamu, bawombeefu era bagumiikiriza.

Mulage okwagalana kwammwe, nga buli omu agumiikiriza munne.

Mwoyo Mutuukirivu yabafuula omu.Mufube okunywerera mu mirembe egibagatta awamu. Omubiri


guli gumu, ne Mwoyo omu, ng’ekyo kye mwayitirwa era kye musuubira bwe kiri ekimu.

Mukama ali omu, n’okukkiriza kumu,n’okubatizibwa kumu, Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga
byonna, akolera mu byonna, era abeera mu byonna.

ESSOMO ELY’OKUBIRI
Ani alituggya ku kwagala kwa Kristu?
Bye tusoma mu bbaluwa Paulo Omutume gye yawandiikira ab’e Roma.
Ab’oluganda, oba Katonda ali ku ludda lwaffe ani anatwesimbako? Olaba n’Omwana we
yennyini tiyamubalirira, n’amuwaayo okubeera ffe ffenna; ng’oyo amutuwadde, byonna yalema
atya okubituweerako? Ani alirumiriza abalonde ba Katonda? Ye Katonda ate abatukuza. Ani
ow’okutonda? Ye Katonda ate abatukuza. Ani ow’okukutula ensonga? Ye Kristu eyafa, ate
nnyini n’azuukira, oyo ali ku ddyo gwa Katonda, ate era y’atukubirira. Naye mu ebyo byonna ffe
tuwangula ku bw’oyo eyatwagala. Nkakasiza ddala nze: newandibadde olumbe oba obulamu,
nandibadde ba Malayika yadde abakungu, oba bakirimaanyi, newandibadde ebiriwo nandibadde
ebirijja, newandibadde maanyi, newandibadde bya waggulu, yadde ebya wansi, newandibadde
ekitonde ekirala kyonna, tekirisobola n’akatono okutuggya ku kwagala kwa Katonda okuli mu
Kristu Yezu Mukama waffe.
Ebyo Omukama y’abyogera.
Yoanna: 2:1-11

Embaga y’obugole

Ku lunaku lw’okusatu, waaliwo embaga y’obugole mu Kana eky’eGalilaaya; nnyina Yezu


yaliyo, Yezu naye baamuyita ku mbaga wamu n’abayigirizwa be. Evviini bwe yaggwaawo,
nnyina Yezu n’agamba abaweereza nti “Kyonna kyanabagamba mukikole.”

Awo waaliwo amatogero ag’amayinja mukaaga nga gatekeddwaawo olw’emikolo


gy’Abayudaaya egy’okwetukuza; buli ttogero nga liweza ebita bibiri oba bisatu. Yezu n’agamba
nti: Amatogero mugajjuze amazzi”. Ne bagajjuza okutuuka ku migo.

Nabagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire katikkiro w’embaga”. Ne batwaala. Naye


katikkiro w’embaga bwe yalegako ku mazzi agafuuse evviini, gy’ataamanya na gy’evudde, sso
abaweereza abaasena amazzi bo nga bamanyi, n’ayita awasizza, n’amugamba nti: Omuntu yenna
asooka kugabula vviini nnungi; naye abantu bwe bamala okutamiira n’aleeta esingako obubi. Sso
ggwe waleseeyo evviini ennungi okutuusa kati”. Mu bubonero bwa Yezu ako ke kabereberye;
yakakolera mu Kana eky’e Galilaaya, n’ayolesa ekitiibwa kye, n’abayigirizwa be ne
bamukkiriza.

Ebigambo by’Evangi ya mukama waffe yezu Kristu.

Essomo erisooka: Amasooka 2: 18-24

Awo Mukama Katonda n'ayogera nti,


“Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; nnaamukolera omubeezi amusaanira.”
Mukama Katonda n'addira ettaka n'akolamu buli nsolo ey'omu nsiko, na buli kinnyonyi ekibuuka
mu bbanga; n'abireetera omuntu okulaba bw'anaabiyita; n'omuntu buli linnya lye yayita ekitonde
kyonna ekiramu eryo lye lyafuuka erinnya lyakyo.
Omuntu n'atuuma amannya buli nsolo na buli ekibuuka mu bbanga, naye omuntu nga tannalaba
mubeezi amusaanira. Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu
olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. Katonda n'akola omukazi mu lubiriizi
lw'aggye mu muntu, n'amuleeta eri omuntu. Omuntu n'ayogera nti,
“Otyo! Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama
yange; naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggyiddwa mu musajja.”
N'olwekyo, omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we, ne
bafuuka omubiri gumu.
Ebyo Omukama y’aabyogera.

The Gospel Reading from Mathew 7:21 – 29


(Ebigambo by’Evanjili ya mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo 7:21 – 29)

“Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ si ye aliyingira mu bwakabaka
obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.  Bangi abaliŋŋamba ku lunaku
luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni
mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo? Ne ndyoka mbaatulira nti
Sibamanyangako mmwe; muve we ndi mmwe mwenna abaakola eby'obujeemu.”
Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa
n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi: enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta,
kibuyaga n'akunta, ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi. Na buli
muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi,
eyazimba enju ye ku musenyu; enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta, ne
bikuba enju eyo; n'egwa, n'okugwa kwayo kwali kunene. Awo olwatuuka Yesu bwe yamala
okwogera ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe,kubanga yabayigiriza nga
nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe.

EVANGIRI:

Katonda kyeyagata, omuntu alekenga kukigattulula.

Ebigambo By’evanjiriya Mukama waffe Yezu Kristu ebivudde mu Matayo (19:3-6)

Mubudde buli, Abafarisaayo ne basembera awali Yezu ne bamukema, ne bamugamba nti:


Omusajja ayinza okugoba mukazi we ng’amulanga buli nsoga yonna?

Ye nabaanukula n’abagamba nti: Timusomanga nti eyakola omuntu omubereberye, yakola


omusajja n’omukazi, nagamba nti: Awo nno omuntu alekenga kitaawe ne nnyina
n’anywerera ku mukazi we, ne babeera babiri; bafuuse omubiri gumu. Awo nno Katonda
kyeyagatta, omuntu alekenga kukigattulula.

Ebigambo by’Evvangili ya Mukama waffe Yezu Kristu.

You might also like