You are on page 1of 8

Obubaka bw’Omwagalwa ali Olubuto ne Foomu y’Okukkiriza

IMARA, Inc.
Okunoonyereza:
IMR-SCD-301
[g1]Obubaka bw’Omwagalwa ali Olubuto ne Foomu y’Okukkiriza[/g1]
Uganda Foomu y’Okukkiriza ey’Omwagalwa ali Olubuto-olufulumya 1.0-
04-Ogwokusatu-2020 eggyiddwa mu [g1]Foomu y’Okukkiriza ey’Awamu-
English-30-Jan-2020-Olufulumya 1.0-Olubuto lw’Omwagalwa-Yayisibwa
nga 16-Ogwokuna-2020.[/g1]
Omuko [1] ku [2][3]
[g1]Omutwe gw’Okunoonyereza:[/g1]
Okunoonyereza okw’Omutendera 2b okugenderera Okwekenneenya
Obulungi n’Obukozi bwa
IMR-687 mu Beetabi abalina obulwadde bwa Nalubiri
[g1]Ennamba y’Okunoonyereza:[/g1]
IMR-BTL-301
[g1]Omusasulizi w’Okunoonyereza:[/g1]
IMARA, Inc.
116 Huntington Avenue, 6th Floor
Boston, MA 02116, USA
[g1]Omusawo w’Okunoonyereza:[/g1]
Amannya g’Omunoonyereza"
Ekifo awakolerwa okunoonyereza"
Endagiriro y’Ekifo
Oluguudo, Ekibuga, Ettundutundu, Zip"
[g1]Ennamba y’Essimu:[/g1]
Ennamba y’Essimu"
[g1]Lwaki ofuna obubaka buno?[/g1]
Osabibwa okuwaayo obubaka obukwata ku [g1]lubuto lwo ne ku kuzaala
n’obulamu bw’omwana wo, kubanga kitaawe w’omwana ggwe
waakazaala yeetabye/yali yeetabye mu kunoonyereza kw’ekisawo
okuyitibwa IMR-SCD-301 olw’okujjanjaba [2]obuwadde bwa Nalubiri
[3]n’eddagala erigezesebwa eriyitibwa IMR-687.[/g1]
Walina oba wafuna olubuto mu kiseera ky’okunoonyereza.
IMR-687 ddagala erigezesebwa nga likulaakulanyizibwa Imara, Inc.
(abasasulira okunoonyereza kuno).
[g1]Okugezesebwa kitegeeza nti eddagala lino terikkirizibwanga
kitongole ekikakasa eddagala eppya, era olw’ensonga eno, terisobola
kugulibwa.[/g1]
Ekigendererwa ky’obubaka buno kwe kuzuula oba ng’eddagala
erigezesebwa teririna bulabe ku bakyala ab’embuto, omwana ali mu
lubuto, n’oyo azaaliddwa.
Obubaka buno bwa mugaso ku kwekenneenya okw’awamu[g1]
okw’eddagala erigezesebwa.[/g1]
Obubaka buno oyinza okubweweera ggwe kennyini, oba okuwa olukusa
omusawo wo, oba omukugu wo ku ndwadde z’abakyala okuwaayo
obubaka buno eri omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza.
[g1]Bw’onakkiriza okwetabamu n’okkiriza ebikukwatako bino
okukozesebwa n’okwekenneenyezebwa, ojja kusabibwa okuteeka
omukono n’ennaku z’omwezi ku foomu eno.[/g1]
Ekiwandiiko kino kirimu obubaka obugaziko obukwata ku nteekateeka
eno.
Osabibwa osome obubaka buno n’obwegendereza, era osabe omusawo
w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza akunnyonnyole ekintu kyonna
ekitategerekeka bulungi.
[1]Oyinza okutwala eka kopi ya foomu y’okukkiriza eno
etannateekebwako mukono oyongere okugyekkaanya oba
okugikubaganyaako ebirowoozo n’ab’ewaka oba mikwano gyo nga
tonnaba kusalawo.
[g1]Kiki ekizingirwamu? [/g1]
Bw’okkiriza okutuwa obubaka obukukwatako, okwetabamu kwo kujja
kutwala ekiseera ky’onaabeerera olubuto n’okuzaala.
Singa ggwe, omwana wo ali munda, oba omwana wo azaalibbwa mufuna
obuzibu ku bulamu bwammwe mu kiseera kino oyinza okusabibwa
okutegeeza omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza, [1]butereevu
oba okuyita mu musawo wo oba omukugu wo ku ndwadde z’abakyala,
okutuusa ekizibu bwe kitereera.[2]
Ggwe n’omwana wo azaaliddwa temujja kusabibwa kukolwako kukebera
kwonna okwongereza ku okwo omusawo wo oba omukugu wo ku
ndwadde z’abakyala kwe yandikukozeeko mu kulabirira olubuto lwo,
omwana wo ali munda n’omwana azaaliddwa.
Omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza bw’aba ng’alowooza nti
waliwo okukebera okulala okwetaagisa okukakasa nti ggwe n’omwana
wo ali munda mubeera bulungi, ojja kutegeezebwa, era ojja kuba
n’eddembe okukkiriza oba okugaana okukebera kuno okulala.
[g1]Kiki ekikusuubirwamu?[/g1]
Bw’oba osalawo oba oneetabamu, lowooza ku bino n’obwegendereza:
[1]Osabibwa okuwaayo obubaka obukwata ku bulamu bwo, olubuto,
n’omwana ali munda oba azaaliddwa.
Okukkiriza kwo kwa kyeyagalire, era kujja kutuyamba okwongera
okutegeera eddagala lino kye lituusa ku mukyala ali olubuto.
[1]Bw’onoosalawo okwetabamu, osobola okusazaamu okukkiriza kwo
ekiseera kyonna.
[1]Omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza tajja kukujjanjaba,
okujjanjaba olubuto lwo oba omwana wo azaaliddwa.
Okukulondoola ng’oli lubuto n’oluvannyuma lw’okuzaala kujja kukolebwa
nga kugoberera enkola eya bulijjo mu ggwanga lyo.
Ebikukwatako ng’omuntu n’ebikwata ku bujjanjabi bwo, olubuto, omwana
ali munda n’omwana azaaliddwa ggwe oba omusawo wo oba omukugu
wo ku ndwadde z’abakyala by’anaawa omusawo w’omwagalwa wo
ow’okunoonyereza biyinza okulabwako abantu abawera oba ebibinja
by’abantu ebirina akakwate n’okunoonyereza kuno.
Obubaka bwe bayinza okulaba bujja kulagibwa oluvannyuma mu
kiwandiiko kino.
Ebikukwatako ng’omuntu bijja kukufunibwako, wabula ebyama byo
n’eby’omwana wo eyaakazaalibwa bijja kukuumibwa okuyita mu kukugira
obubaka obuyinza okubaviirako okumanyika, omuli amannya, endagiriro,
n’ennamba z’endagamuntu ezigabibwa gavumenti.
[g1]Buzibu ki na kutawaanyizibwa ki ebiyinza okubaamu? [/g1]
Olw’okuba nga tewali mitendera gigenda kuyitibwamu, tewali buzibu
bulengerwa nga bwekuusa ku kukufunako ebikukwatako, ebikwata ku
mwana ali mu lubuto oba azaaliddwa.
[1]Tekimanyiddwa oba nga IMR-687 ayinza okukosa ebitundu b’omusajja
n’omukazi ebyenyigira mu kuzaala oba omwana ali munda.
Ggwe oba omwagalwa wo muyinza okwogerako n’omusawo
w’okunoonyereza oba omukugu mu ndwadde z’abakyala ku nsonga
zonna ze muyinza okuba nazo ezeekuusa ku buzibu obuyinza
okukutuukako, ku mwana ali munda oba azaaliddwa olw’omwagalwa wo
okukozesa eddagala ly’okunoonyereza.
[g1]Waliwo emiganyulo gyonna?[/g1]
Tewali miganyulo gya kisawo eginaava mu kukkiriza okuwaayo
ebikukwatako n’ebikwata ku mwana wo azaaliddwa.
Wabula, bwe weetabamu, ojja kuyamba okuwaayo obubaka obupya ku
ddagala erigezesebwa obuyinza okuganyula abantu abalala gye bujja.
[g1]Waliwo ekirala ekiyinza okukolebwa?[/g1]
Oyinza okusalawo obutabaako ky’otegeeza ku lubuto lwo, omwana wo ali
munda oba azaaliddwa; noolwekyo, awo waba tewajja kubaawo bubaka
bukufunibwako.
Onaategeezebwa singa wabaawo obubaka obupya obufunibwa mu
kiseera ky’okunoonyereza?[[g1]
Omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza ajja kukutegeeza mu
budde obubaka bwonna obupya obuyinza okukyusa okusalawo kwo
okuwaayo ebikukwatako.
Mu ngeri eno, oyinza okusabibwa okussa omukono ku foomu y’okukkiriza
endala.
[g1]Ani gw’oyinza okutuukirira ng’olina ebibuuzo ebirala?[/g1]
Bw’oba n’ekibuuzo, ensonga oba okwemulugunya ku kintu kitundu
ky’okunoonyereza kuno kyonna, osaana obuuze omusawo
w’okunoonyereza oba mmemba wa tiimu y’okunoonyereza ajja okukola
kyonna ekisoboka okukuyamba.
Kuba essimu XXXXXXXXXX.
Bw’oba n’ebibuuzo ku ddembe ly’Omwagalwa wo ng’omwetabi mu
kunoonyereza kuno, oba ku nsonga yonna oba okwemulugunya ku
kunoonyereza ggwe oba omwagalwa wo bye mutayagala kwogera na
musawo wa kunoonyereza oba tiimu y’abanoonyereza, n’okumanya
ebisingawo ku ddembe ly’omwagalwa wo ng’omwetabi mu
kunoonyereza, tuukirira XXXXXXXX.
Singa omwagalwa wo afuna obulwadde oba obuvune obw’amaanyi mu
kiseera ky’okunoonyereza kuno, tegeeza omusawo w’omwagalwa wo
ow’okunoonyereza amangu ddala.
Tuukirira omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza ng’okozesa
endagiriro eragiddwa ku muko gw’ekiwandiiko kino ogusooka.
[g1]Kiki ekibaawo singa okyusa ebirowoozo byo?[/g1]
Obwetabi bwo bwa kyeyagalire.
Tokakibwa kwetabamu, era oyinza okusazaamu okukkiriza kwo
okw’okukozesa ebikukwatako, ebikwata ku mwana wo ali munda, oba
omwana azaaliddwa ekiseera kyonna awatali kuwa nsonga ya kusalawo
kwo.
Kino tekijja kukosa ngeri mwagalwa wo gy’ayisibwamu mu
kunoonyereza.
Omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza oba omusasulizi ayinza
okukomya okukuŋŋaanya ebikukwatako ekiseera kyonna nga tosoose
kukkiriza.
[g1]Waliwo ebisale byonna by’olina okusasula ng’osazeewo
okwetabamu?[/g1]
Tojja kusasula ssente n’emu.
Omusasulizi tajja kusasula ssente zonna ezeekuusa ku lubuto lwo oba ku
kuzaala kwo.
Tojja kusasulwa olw’okuwaayo ebikukwatako.
[g1]Ani asasulira okunoonyereza kuno?[/g1]
Imara, Inc. (kampuni ekola eddagala) y’eteekateeka n’okusasulira
okunoonyereza kuno omwagalwa wo kwe yeetabyemu/kwe yali
yeetabamu.
Imara, Inc. kijja kusasula omusawo w’omwana wo ow’okunoonyereza
n’ekifo awakolerwa okunoonyereza okuteekateeka okunoonyereza
omwagalwa wo kwe yeetabyemu/kwe yali yeetabyemu awamu
n’okukuŋŋaanya ebikwata ku lubuto lwo n’omwana wo ali munda oba
azaaliddwa.
[g1]Eddembe lyo ne by’olina okufuna mu kuliyirirwa bye biriwa?[/g1]
Okukkiriza okuwaayo ebikukwatako n’ebikwata ku mwana wo ali munda
oba azaaliddwa nga bwe kinnyonnyoddwa mu foomu y’okukkiriza eno
tekikugira ddembe lyo ery’okuyambibwa mu mateeka.
Bw’oteeka omukono ku foomu y’okukkiriza eno, oba teweggyeeko
ddembe lyo eriri mu mateeka.
Tewali buzibu oba kutawaanyizibwa okusuubirwa mu kuwaayo
ebikukwatako oba ebikwata ku mwana wo ali munda oba azaaliddwa.
Tewali buvune busuubirwa kubaawo mu olw’okukufunako ebikukwatako,
n’olwekyo, tewali kuliyirirwa kujja kukolebwa.
Tewali miganyulo gya kisawo gisuubirwa eri ggwe ne/oba omwana wo ali
munda oba azaaliddwa.
[g1]Ebyama byo binaakuumibwa bitya, era ebikukwatako binaakuumibwa
bitya nga bya kyama?[/g1]
Ekifo awakolerwa okunoonyereza omwagalwa wo kw’alimu kijja
kuwandiika ebikukwatako ng’omuntu, ebikwata ku mwana wo ali munda,
or azaaliddwa, omuli amannya go, endagiriro, ekikula, obuwanvu,
obuzito, n’eggwanga lyo (nga bya kukozesa ku nsonga za kisawo zokka),
awamu n’ebikwata ku byafaayo byobujjanjabi bwo.
Obubaka buno wammanga obukwata ku lubuto lwo n’omwana ali munda
oba azaaliddwa bujja kukuŋŋaanyizibwa:
Ebivudde mu kwekenneenya ne/oba okukebera okw’omu ggezeserezo
okukolebwa nga tonnazaala
Ebikwata ku biba bituuseewo oba okwekenneenya kwonna mu kiseera
ky’olubuto ne mu kuzaala
Ebikwata ku buzibu bwonna obuba butuuseewo mu kiseera ky’olubuto
n’okuzaala
Ebikwata ku ddagala lyonna eryetaagisa
Ebivudde mu lubuto lwo
Ebikwata ku mwana azaaliddwa, omuli ekiseera ky’amaze munda
n’embeera y’obulamu bwe ey’awamu
Abantu bano nabo bayinza okulaba ku bubaka buno abakola ku
kunoonyereza abajjanjaba omwagalwa wo bwe babeera nabo:
Abalondoozi n’abeekenneenyi b’okunoonyereza, abayinza okuba nga
bakolera Imara, Inc. oba abagikiikirira era nga bano beekenneenya
okukakasa nti okunoonyereza kukolebwa mu butuufu bajja kutunula ku
bubaka obukuŋŋaanyiziddwa ku ggwe, omwana wo ali munda, n’oyo
azaaliddwa okukakasa nti butuufu
Omukozi wa Imara, Inc. yenna, oba agikiikirira, ayinza okuwerekera ku
bulondoozi n’abeekenneenya b’okunoonyereza olw’okukuuma omutindo
n’okutendekebwa
EC eyayisa okunoonyereza era ekakasa nti eddembe lyo n’obulamu bwo
bikuumibwa
Ebitongole ebya wano ne mu nsi yonna ebyenyigira mu kukuuma
obulungi bw’okunoonyereza eri abeetabi
Abakozi bonna abatunula ku bikukwatako, oba ebikwata ku mwana wo ali
munda oba azaaliddwa, bateekwa okukuuma ebyama byo obudde
bwonna.
Okukakasa nti ebyama byo, [1]n’eby’omwana azaaliddwa [2]bikuumibwa,
amannya go, ag’omwana wo azaaliddwa n’ebirala ebiyinza okubaviirako
okumanyika tebijja kussibwa ku bubaka obufuulumizibwa olw’ensonga
z’okunoonyereza.
Wabula, ggwe n’omwana wo azaaliddwa mujja kutegeererwa ku nnamba
yokka.
Omusawo w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza yekka n’abakozi
abakkirizibwa be bajja okusobola okukwanaganya ennamba eno
n’amannya, nga bakozesa olukalala olujja okuba nga luterekeddwa
bulungi ku kifo ewakolerwa okunoonyereza omwagalwa wo kw’alimu
okumala emyaka 25.
[g1]Amannya gammwe mu bufunze n’ennaku kwe mwazaalirwa nabyo
biyinza okuwandiikibwa okuyambako mu kulaba ebibakwatako.[/g1]
Ebibakwatako ebiriko ennamba bijja kuweerezebwa eri Imara, Inc. n’abo
abagikolera okubyekenneenya.
Ebinaava mu kunoonyereza bwe binaafulumizibwa, ebiboogerako tebijja
kwasanguzibwa.
Olukalala lw’amakampuni aganaaweerezebwa ebibakwatako ebiriko
ennamba lujja kufunibwa okuva eri Imara, Inc. nga luyisibwa mu musawo
w’omwagalwa wo ow’okunoonyereza.
Mu mateeka agakuuma obubaka, ekifo awakolerwa okunoonyereza
omwagalwa wo kw’alimu ne Imara, Inc. bajja kuvunaanyizibwa bombi
okulaba ng’ebikukwatako bikuumwa bulungi.
Olina eddembe, okuyita mu musawo w’omwagalwa wo
ow’okunoonyereza, okufuna obubaka bwonna obukuŋŋaanyiziddwa ku
ggwe, omwana wo ali munda n’oyo azaaliddwa, bwe kiba nga
kyetaagisa, okusaba okutereezaamu.
Wabula, okusobola okugoberera enkola z’ekinnassaayansi mu
kunoonyereza, eddagala omwagalwa wo lye yafuna mu kunoonyereza
lyetaaga okusigala nga terimanyiddwa (kwe kugamba, tewali alimanya)
okutuusa ng’obubaka bwekenneenyezeddwa, okuggyako gye
kyetaagisizza okutegeezebwa (kwe kugamba, okubikkulwa) mu mateeka
oba ekiragiro.
Abafuna ebikukwatako bayinza okuba mu nsi ezitakuuma bubaka na
ddembe ly’abantu.[g1][/g1]
Imara, Inc., abagikiikirira, n’aboobuyinza, mu mbeera zonna, bajja
kugezaako okukuuma ebyama nga bakolera mu mateeka g’ensi ezo.
Bw’osazaamu okukkiriza kwo, ebipya ebikwata ku lubuto lwo n’embeera
y’obulamu bw’omwana wo ali munda oba azaaliddwa tebijja
kukuŋŋaanyizibwa.
Wabula, obubaka obunaaba bumaze okukuŋŋaanyizibwa buyinza
okugenda mu maaso nga bukozesebwa n’okuweerezebwa abantu
abalala (abalagiddwa waggulu), nga bwe kyetaagibwa mu kunoonyereza
kuno.
[g1]Okunoonyereza ab’ebyobulamu n’ab’ebyempisa?[/g1]
EC yawa endowooza yaayo ng’ewagira okunoonyereza kuno.
[g1][1]Ebigambo by’Okukkiriza Okukuŋŋaanya Ebikwata ku Bantu
(Olubuto n’Okuzaala)[/g1]
Bw’ossa omukono ku foomu eno, obeera okukkiriza ebikukwatako
n’ebikwata ku mwana wo ali munda oba azaaliddwa okukeberwa,
okuweerezebwa, n’okukolwako mu ngeri eno:
Abakiikirira Imara, Inc., EC, n’abalambuzi b’aboobuyinza bayinza
okwekenneenya ebikwata ku bulamu bwammwe nga batunula butereevu
ku biwandiiko byobulamu ebibyo n’eby’omwana wo azaaliddwa.
Obubaka obufunibwa mu nteekateeka eno, omuli obubaka ku byobulamu
obuliko ennamba ku ggwe n’omwana wo azaaliddwa, buyinza
okusigazibwa ne bukozesebwa oluvannyuma mu kunoonyereza okulala
okukwata ku bulamu bw’omwagalwa wo, okuggyako ng’okigaanye.
Obubaka obufunibwa mu nteekateeka eno buyinza okuweerezebwa mu
nsi endala ezitalina nkola ya kukuuma bikwata ku bantu nga nsi yo.
Nsomye era ntegedde ebiwandiikiddwa mu foomu y’okukkiriza eno.
Nfunye omukisa okubuuza ebibuuzo, era mmatidde okunnyonnyola
okukoleddwa.
Nzikiriza nga sikakiddwa okuwaayo ebikwata ku lubuto lwange ne ku
kuzaala.
Nzikiriza/sikkiriza (londako kimu) nti omusawo wange oba omukugu
wange mu ndwadde z’abakyala ayinza okuwaayo eri abakozi
b’okunoonyereza abajjanjaba omwagalwa wange byonna by’amanyi
ebikwata ku bulamu bwange, olubuto lwange, omwana wange ali munda,
n’omwana wange azaaliddwa.
Nzikiriza/sikkiriza (londako kimu) nti abakozi b’okunoonyereza
abajjanjaba omwagalwa wange bayinza okutegeeza omusawo wange
oba omukugu wange mu ndwadde z’abakyala ebikwata ku ddagala
ezigezesebwa engeri gye liyinza okukosa olubuto lwange n’omwana ali
munda, olwa taata w’omwana okuba ng’afuna eddagala
ly’okunoonyereza.
Bwe nteeka omukono ku foomu eno, mba siwaddeeyo ddembe lya
mwana wange ali munda oba azaaliddwa eriri mu mateeka.
Nkitegeera nti nja kufuna kopi ya foomu y’okukkiriza eno
ng’eteereddwako emikono n’ennaku z’omwezi.
Amannya g’Omwetabi ali Olubuto [1][2][3]Obudde bw’Okussaako
Omukono
Omukono gw’Omwetabi ali Olubuto[1][2]Ennaku z’Omwezi ez’Okussaako
Omukono
Amannya g’Omukiise Akkirizibwa mu Mateeka[1][2]Obudde
bw’Okussaako Omukono
(Bwe kiba kyetaagisa)
Omukono gw’Omukiise Akkirizibwa mu Mateeka[1][2]Ennaku z’Omwezi
ez’Okussaako Omukono
Amannya g’Omujulizi (Bwe kiba kyetaagisa)[1][2][3]Obudde
bw’Okussaako Omukono
Omukono gw’Omujulizi[1][2]Ennaku z’Omwezi ez’Okussaako Omukono
Nnyinyonnyodde okunoonyereza era ne nnyanukula ebibuuzo
by’omwagalwa w’omwetabi.
Nja kuwa omwagalwa w’omwetabi/amukiikirira mu mateeka kopi ya
foomu y’okukkiriza eno ng’essiddwako emikono n’ennaku z’omwezi.
Amannya g’Omuntu Afuna Okukkiriza[1][2][3]Ennaku z’Omwezi
ez’Okussaako Omukono
Omukono gw’Omuntu Afuna Okukkiriza[1][2][3][4]Ennaku z’Omwezi
ez’Okussaako Omukono

You might also like