You are on page 1of 13

EBIRUNGAMYA ALIPOOTA YA BUSINESS MEETING

ALIPOOTA Y’ABAKADDE (ELDERS)

Omuwendo gw’abakadde abakola

1. Alipoota ebeeramu alipoota zonna ez’ebitongole mu bufunze


2. Obulamu bw’ekkanisa obw’omwoyo, gamba; mubaamu abantu abajja okusinza buli
Ssabbiti, obulamu bw’abantu mu kukula mu mw’omwoyo, mu kuzza ebitundu by’ekkumi
n’ebirabo. Bameka abenyigira mu kuwa, obuweereza bw’ebitongole. Bameka abagula
lesson, obusisimuka. Bameka abalina bayibuli, ebitabo eby’omwoyo gw’obunabbi,
enjigiriza za Bayibuli, obutabo bw’enyimba, lesson z’abaana, abantu balina obwagazi
okuweereza Mukama n’ebilala.
3. Okukyalira ab’oluganda okukoleddwa n’embeera yabwe ey’ebyenfuna, obulamu obwa
bulijjo, obw’omwoyo, n’embeera yaabwe okutwalira awamu.
4. Emirimu gy’aboluganda gyemulambudde n’okusabira.
5. Ennyumba empya, ebidduka, oba ebintu ebirala ebiwongeddwa.
6. Babuulizi bameka abatuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe nga preaching pulogulamu
bweli?
7. Okubudaabuda, okuwa amagezi, okuyigiriza, okulabula, ebikoleddwa.
8. Okulambula amakomera n’amalwaliro ebituukiddwako.
9. Enteekateeka z’okubuulira enjiri ezikoleddwa.
10. Okusembera okukoleddwa.
11. Enkiiko z’abakadde ezituuziddwa.
12. Okusiiga amafuta okukoleddwa.

EKITONGOLE KY’OKUBUULIRA ENJIRI (PERSONAL MINISTRIES)

Akakiiko ko kaliko baani?

1. Obubiina oba abantu abenyigira mu kubuulira enjiri.


2. Abantu abakyaliddwa olw’okubuulira enjiri, mu buli ngeri zonna.
3. Bulungi bwansi akoleddwa mu kitundu.
4. Gospel rally ezikoleddwa.
5. Enkungaana z’okudda obuggya ezikoleddwa.
1
6. Ebituukiddwako, abantu abagasse ku kkanisa okuyita mu kubatizibwa.
7. Embeera y’obubiina/famile n’okukola kwabwo.
8. Okutendekebwa okukulembera abakristaayo okubuulira enjiri okukoleddwa.
9. Ebisoomoza bye musisinkanye.
10. Enteekateeka ez’omumaaso ez’okubuulira enjiri mu mitendera gyonna.

ALIPOOTA Y’OMUWANDIISI (CHURCH CLERK)

Laga abakola akakiiko ko n’omukadde

 Soma amannya g’abekkanisa bonna.


 Omuwendo gwa bamemba abayigidde okuyita mu kubatizibwa, n’abasengukidde mu
kkanisa eno.
 Amannya gaabasenguddwa okugenda mu m’akkanisa amalala.
 Amabaluwa agatuwandiikiddwa ne getuwandiise.
 Ba memba betutamanyi wa gyebali.
 Ba memba abakwasiddwa empisa, n’abajjidwa mu kitabo ky’ekkanisa
 Ba memnba abaafa.
 Ebiteeso ebiteeseddwako. (a) ebitukiriziddwa (b) ebikyakolwako (c) ebitanatuukirizibwa
na nsonga ki ebigaanye okumalirizibwa.
 Omuwendo gwa bamemba ababaddewo mu nkiiko ku buli kikumi (%), nabatakikidde
ddala
 Bintu bimeka ebiwongeddwa gamba, amayumba, ebidukka, ebintu by’omu mayumba
n’abaana abawongeddwa.
 Bameka abetabye mu kusembera, nabatasembedde.
 Mbaga mmeka ezigattiddwa wano n’ebweeru.
 Mikolo ki egibaddewo mu kkanisa, gamba, okusaba n’okusiiba, okukyaaza abagenyi
abakukunavu, okutongoza, n’ebirala.
 Semina z’ebitongole ezikoleddwa.
 Ebituukiddwaako ebirungi.
 Ebisomooza.
 Enteekateeka ez’omumaaso ez’ekitongole.
 Okwebaza.
2
OMUKWANAGANYA (INTEREST COORDINATOR)

 Omuwendo gw’abantu abasanyukira enjigiriza yaffe abatuukiddwaako n’endagiriro


zabwe.
 Abasanyukira e kkanisa yaffe, obukugu bwabwe, n’abatukyaliddeko.
 Abegasse ku kkanisa nga tusuubira okubabatiza, oba abo abandyagadde okwegatta ku
kkanisa yaffe.
 Ebisomooza mu mulimu.
 Enteekateeka ez’omumaaso.

ALIPOOTA Y’OMUWANIKA (TREASURER)

Akakiiko ko kaliko baani?

 Alipoota etulaga ebintundu eby’ekkumi n’ebirabo ebiwerezeddwa ku bulabirizi.


 Ssente ezisigala mu kkanisa ne kyezikoze.
 Bameka abazizza ekitundu ky’ekkumi, bakola bitundu ki ku kikumi? (%)
 Bameka abawadde ebirabo, bakola bitundu bimeka ku kikumi? (%)
 Embeera y’ebyenfuna okutwalira awamu (per capital)
 Okumanyisa n’okusomesa mu zi semina ebikoleddwa n’engeri y’okuwa ebirabo.
 Ebitundu by’abakomyaawo ebitundu by’ekkumi n’ebirabo wakati wa basajja n’abakazi.
 Okukyalira business za bamemba ,okuwa amagezi, okusomesa, n’okuzisabira.
 Ebisomooza ebiriwo.
 Enteekateeka ez’omumaaso eziinasobozesa abatawa birabo n’ebitundu by’ekkumi okuwa
n’abawa obutalekaayo, n’abawa ebintu okuwa ebiramba.
 Esembebwa okuva mu kitongole.

ALIPOOTA Y’ABADINKONI (DEACONS AND DEACONESSES)

Abakola ekitongole kino;

 Olukalala lwa mannya ga b’oluganda abakyaliddwa.

3
 Abaavu, n’abatesobola abayambiddwa, abalwadde abakyaliddwa ab’ekkanisa n’abatali.
 Statement ekwata ku kusembera, gamba, bamemba bameka abasembera, bagenyi bameka
abatali ba Adventist abasembera? Abalwadde bameka abaseembezebwa ebweru naye nga
ba kkanisa?
 Abagenyi bameka abaatukyalira mu kusinza kwaffe?
 Olukalala lw’ebintu abadinkoni byebalina; gamba eby’okusembera, eby’efumbiro,
ebirongoosa, Entebbe n’emmeeza, amasowaani, ne kalonda omulala yenna.
 Ssente meka ezisolozeddwa neziwebwa omuwanika w’ekkanisa? Ssente meka
ezisasuddwa ku masanyalaze, amazzi n’ebirala.
 Semina meka oba emisomo egikoleddwa.
 Okubudabuda okukoleddwa munda n’ebweru.
 Ensaasanya y’ensimbi ekoleddwa ekitongole kino.
 Ebisommoza by’emusisinkanye.
 Enteekateeka ez’omumaaso.
 Bisembebwe ekitongole.

ALIPOOTA EY’ESSOMERO LYA SSABBITI.(SABBATH SCHOOL)

Akakiiko ko n’abakaliko

 Omuwendo gwa bamemba bonna ab’essomero lya Ssabbiti mu kkansa enkulu ne matabi
gonna.
 Bameka abalina bayibuli, lesson, enjigiriza z’abayibuli, lesson z’abaana.
 Omuwendo gw’abagenyi batukyalidde buli ssabbiti. Ab’ekkanisa natali.
 Abaana abazaliddwa abeyongedde ku ssomero lya ssabbiti.
 Abaana abawongeddwa
 Omuwendo gw’ebibiina by’essomero lya ssabbiti n’okukola kwabyo.
 Ekifaananyi ky’essomero lya ssabbiti gamba entuuka y’abantu mu ssomero lya ssabbiti,
abantu bameka bayiga lesson?
 Semina ezikoleddwa
 Ensaasanya y’ensimbi mu kitongole kino.
 Ba memba abatuuka nga essomero lya ssabbiti liwedde si bamemba.
 Ebisomooza
4
 Enteekateeka y’omumaaso.
 Okwebaza.

ALIPOOTA Y’EKITONGOLE KY’ABAKYALA (WOMEN MINISTRIES)

Akakiiko ko n’abakaliko

 Abakyala abali waggulu w’emyaka 18 egy’obukulu bameka.


 Okukyaala okukoleddwa mu bakyala.
 Omulimu gw’ebweru nga; okukyalira abalwadde, abali mu makomera, okukola bulungi
bwansi, okugaba zuula, okugabira ebintu bakateyamba okukoleddwa.
 Ennaku z’abakyala ezikuziddwa.
 Abakyala abagatte n’abatali, bali bameka?
 Semina, n’emisomo ebikoleddwa.
 Abakyala abalina obukugu (skills) obutali bumu.
 Okubudabuda okukoleddwa.
 Emisomo egireeta ssente egikoleddwa.
 Social days/enaku z’okusanyukamu
 Ebisomooza
 Enteekateeka y’omu maaso.

OMUKUUMI W’EBINTU (CUSTODIAN)

Alipoota y’eby’obuggaga byonna eby’ekkanisa.

 Ettaka n’ebyapa ne ndagaano, fotokopi zaabyo, n’ebipimo ebituufu.


 Ebizimbe by’ekkanisa, amayumba, amafumbiro, kabuyonjo, amaduuka, woolo.
 Entebbe, emmeeza, situulu, ebituuti, kabada, ebiweempe(carpets), seefu za ssente, notice
boards, kateni, tanka za mazzi, n’ebiral ebigwa mukkowe eryo.
 Ebyuuma; emizindaalo, emassukiza (microphones) mikkisa, amplifier, decoder, essawa,
n’ebirala ebigwa mu kkowa eryo.
 Ebyamasanyalaze; computers, laptops, camera, projector, waya, terefayina, ladiyo,
fotokopi, masini, ekyuma ekikuba ekyapa, generator, printer.
5
 Eby’efumbiro; amasepiki, essowani, fulayingi paani, ebijjiko ne wuuma, ebikopo
biddiisi, amagiraasi, n’ebirala.
 Ebisulwaako; emifaliso, amasuuka, bulangiti, obutto, bedikava, obutimba bw’ensiri,
n’ebirala.
 Okusomoozebwa.
 Enteekateeka ez’omumaaso.

ABAAMI ABA ADVENTIST (ADVENTIST MEN)

Akakiiko ko

 Omuwendo gwa basajja abali waggulu w’emyaka 18.


 Okukyalira abasajja okukoleddwa.
 Omulimu ogukoleddwa ebweeru; okukyalira n’okusabira abalwadde, abali mu
makomera, bulungi bwansi akoleddwa, zuula agabiddwa, ebintu ebigabiddwa eri
abetaaga.
 Okubudabuda okukoleddwa.
 Abasajja abagatte n’abatali bameka.
 Semina ezikoleddwa.
 Omuwendo gw’abalina obukugu (skills).
 Abalina mirimu/abatalina mirimu.
 Enteekateeka ez’okuyamba abatalina mirimu.
 Enaku ez’okumanyagana (social) zibadde meka.
 Ebisomooza
 Enteekateeka y’omumaaso n’okwebaza.

OW’EBYAMAKA (FAMILY LIFE)

Akakiiko ko

 Omuwendo gw’abafumbo bonna, abagatte n’abatali.


 Embaga ezigattiddwa.
 Semina z’amaka ezikoleddwa.
6
 Biki ebikoleddwa okuyamba abo abatanagattibwa.
 Okubuulirira abatanaba kufumbirwa okukoleddwa (pre-marital counseling).
 Okubudabuda okw’amaka okukoleddwa.
 Okujaguza emyaka 25, 40, 50 mu bufumbo okukoleddwa.
 Embeera y’amaka mu kkanisa okutwalira awamu.
 Obufumbo obwabulukuse.
 Ebisomooza.
 Enteekateeka y’omumaaso.

EBY’OBULAMU N’OKWEGENDEREZA (HEALTH AND TEMPERANCE)

Akakiiko ko

 Enkyaala ezikoleddwa okukakasa embeera ennungi ey’obulamu mu maka gaba memba


b’ekkanisa.
 Amaka ameka agalina kabuyonjo ez’omutindo, obutandaalo, amafumbiro, ennyumba
ez’obulamu.
 Obutabo, empapula, ez’ebyobulamu ezigabiddwa.
 Okwogera kuby’obulamu munda n’ebweeru w’ekkanisa ebikoleddwa.
 Kawefube ow’okukomya okufuuweeta segereti, enjaga, okulya amayirungi,
n’ebiragalalagala, okukoleddwa.
 Okulabula okwewala akawuka ka sirimu mu baana, abavubuka, n’abakulu okukoleddwa.
 Bulungi bwansi okuyita mu kujjanjaba.
 Okubuulira enjiri ya gospel rally mu bibangirizi/oba okukumba n’ebipande.
 Kiraabu meka ez’ebyobulamu ezigguddwaawo, mu kufumba, okukuuma situleesi, mu
kkanisa n’ebweeru.
 Okuyigirizibwa ku kabi kokukozesa amakerenda ga famile, n’okujjamu embuto mu
bawala abato, okukozesa eddagala nga omusawo talikulagiridde, okuyigiriza
kukwegadanga mu batanafumbirwa okukoleddwa.
 Amakomera agakyaliddwa, wamu n’amalwaliro.
 HIV/AIDS kiraabu ezitandikiddwa.
 Wiki z’okudda obuggya mu by’obulamu ezikoleddwa.
 Ebisomooza n’enteekateeka ez’omumaaso.
7
EBY’EMPULIZIGANYA(COMMUNICATION)

Akakiiko ke

 Endagiriro y’ekibanja ky’ekkanisa ku mutimbagano, era ekozesebwa etya eri ab’ekkanisa


okumanya agafa awalala.
 Ebipande ebiragirira ekkanisa weeri.
 Enkolagana y’ekkanisa n’abakulembeze mu kitundu eri etya, ekifaananyi ky’ekkanisa
kikuumiddwa nga kirungi?
 Emirundi ekkanisa gyeyenyigidde mu bulungi bwansi n’abantu b’ekitundu, gamba mu
kwoleesa, n’emikolo emirala.
 Ebikoleddwa ekkanisa nga biyisiddwa ku ladiyo, terefayina, mu mpapula z’amawulire ne
ku mikutu emikwanira wala.
 Obutambi obuliko ebyakolebwa mu kampu, effort, pathfinder nga batongozebwa oba
okutikirwa n’emikolo gy’ekkanisa egy’enjawulo.
 Sitatimenta engeri entegeka z’ekkanisa gy’ezitumbuddwamu okuyita mu mawulire,
n’ebirala.
 Ebisomooza.
 Enteekateeka ez’omumaaso.

OBUWANIKA (STEWARDSHIP)

Akakiiko ke

 Alipoota namutayiika ekwata ku nsimbi n’ebyomwoyo eby’ekkanisa.


 Omuwendo gwabo abetaba mu kuzza ekimu eky’ekkumi n’ebirabo byonna.
 Bameka abawa ebitundu by’ekkumi byokka n’ebirab byokka.
 Buli muntu awa meka (per capital) okutuwa amaanyi getunakozesa.
 Kaada ezebaza abawa ebirabo n’ebitubdu by’ekkumi zivuddemu ki okukyusa
olw’obulungi.
 Sitatimenti ku kusisaako essira ku miramwa egy’obuwanika mu bitongole nga
bwegitukiriziddwa.
 Ebisomooza.
 Enteekateeka ez’omumaaso.

8
EBY’ENKULAKULANA (DEVELOPMENT)

Akakiiko ke

 Pulojekiti eziwedde n’ensimbi zezitutte.


 Pulojekiti ezitanagwa n’ebisomooza ebiremesa okugwa kwazo.
 Emisomo egy’okwekulakulanya.
 Bizinensi ezikyaliddwa nga ekigendererwa kuwa magezi n’okuzisabira.
 Abalina emirimu n’abatalina.
 Entegeka z’okumalawo ebbula ly’emirimu mu ba memba
 Alipoota y’akakiiko akazimbi nga kawa embalirira yaako mu bujjuvu.
 Alipoota ku nkulakulana mu matabi.
 Ebisomoza
 Enteekateeka y’omu maaso.

OW’EBITABO /ZUULA (PUBLISHING MINISTRY/VOICE OF PROPHECY)

Akakiiko ke

 Omuwendo gw’abo abenyigira mu kugaba empapula ne ebitabo ebweeru w’ekkanisa.


 Ebitabo, magazine, meka ebigabiddwa.
 Ebitabo by’omwoyo gw’obunnabi ebisomeddwa okuyita mu kwota.
 Abewandiisiza okusoma lesson za zuula.
 Mu kwota lesson, obusisimuka, lesson z’abaana, byenkanawa ebyagulwa n’ebiyigibwa.
 Abantu ababatizibwa okuyita mu kuyiga zuula n’ebitabo by’omwoyo.
 Okutikira aba zuula okukoleddwa abo abamazeeko lesson za zuula 26.
 Tulina etterekero ly’ebitabo, mulimu ebitabo bya ngeri ki era bimeka?
 Ebisomooza
 Enteekateeka eyo mumaaso.

OBUWEEREZA OKUYITA MU KUSABA (PRAYER MINISTRY)

Akakiiko ke

9
 Okusaba okukoleddwa, okusaba wakati mu wiki, okwaniriza ssabbiti olw’eggulo.
 Essala eziddiddwaamu, n’obujulirwa.
 Ababaddewo mu buli kusaba okwo.
 Ofuluma ebweeru nga tuli mukubuulira okuyita mu kusabira abantu.
 Ebituukiddwaako
 Ebisomooza.
 Enteekateeka eyo mu maaso.

EBY’OKUYIMBA (MUSIC MINISTRY)

Akakiiko ke

 Amannya ga bayimbi ne kwaaya y’ekkanisa abakubwaako akalulu mu lukiiko


lw’ekkanisa.
 Kwaaya y’abavubuka, abaana, abakyala, abaami ne ez’amaka.
 Amannya g’ebibiina(singing groups) agayisibwa mu lukiiko lw’ekkanisa.
 Amannya gaba memba abalala abava mu makkanisa amalala ebweeru wa disitirikiti,
agayisibwa olukiiko lw’ekkanisa n’ebaluwa okuva mu basumba ababatwaala.
 Ebirungi ebituukiddwaako, okukyaala, okulikoodinga, okuyigiriza ab’ekkanisa
okuyimba.
 Enkungaana z’enjiri ezikoleddwa zi kwaaya butereevu.
 Kwaaya ezitukyalidde, naffe gyetukyadde
 Tulina gawuni, n’ebyambalo ebirala bimeka?
 Semina z’okutendeka okuyimba ezikoleddwa.
 Sente ezisaasanyiddwa ku choir.
 Ebisomooza
 Enteekateeka eyo mumaaso.

EBY’ENJIGIRIZA (EDUCATION)

Akakiiko ke

 Abantu bonna ab’ekkanisa n’emitendera gy’obuyigirize bwabwe.

10
 Waliwo kiraasi y’abakulu. (adult literacy program)
 Wiiki y’ebyenjigiriza omuli ebikolebwa nga okuyigiriza obukugu, okubudabuda
n’okuyigiriza empisa z’ekikristaayo.
 Abaana baba memba abasoma n’ebibiina mwebali oba amatendekero aga waggulu.
 Abaana abali mu masomero g’ekkanisa naago aga b’ekkanisa.
 Okuwabula abaana ku biki byebandisomye mu maaso (career guidance).
 Okusoma kwomu lumumula (vocational bible school) okukoleddwa.
 Abaana abaweereddwa basale, enzijuvu oba ez’ebitundu okuva mu kkanisa.
 Ebisomooza
 Enteekateeka ez’omumaaso.

ABAANA (CHILDREN MINISTRY)

Akakiiko ke

 Abaana bonna mu ntegeka y’emyaka gyabwe.


 Ebibiina byonna abaana ababirimu, n’omuwendo gw’abasomesa.
 Ebyetaago by’abaana mu kkanisa n’ebweeru, okuyita mu konoonyereza n’okubuuza
abantu.
 Ebikoleddwa mu kkanisa n’ebweru, gamba okugaba zuula, magazine, oba ebintu eri
abetaaga ne bulungi bwansi.
 Pulaani y’omwaka etukiriziddwa kyenkana wa.
 Lesson meka ezikoseddwa.
 Omuwendo gw’abazadde abasaba n’abaana babwe.
 Empisa ziri zitya mu baana
 Ebitukiddwaako
 Ebisomooza
 Enteekateeka yo mumaasa

ABAVUBUKA (YOUTH MINISTRY)

Ekigendererwa: Okutwaala obubaka bwa ba Adventist mu nsi yonna mu mulembe gwaffe.

Akakiiko ke

11
 Omuwendo gw’abavubuka bonna mu ntegeka y’emyaka gyabwe.
 Kiraabu meka ne ba memba abazirimu.
 Semina meka n’okutendeka okukoleddwa.
 Camporees, master guide ne pathfinder camps, ssabbiti z’abavubuka ebikoleddwa.
 Inductions ne investure mu kiraabu ez’enjawulo ezikoleddwa.
 Ebibiina bya adventures, pathfinder, ne master guide ebiriwo.
 Ba memba ba meka abasasudde dolar emu eya insurance ey’abaana bonna nga kwoota
esooka tenagwaako.
 Emizanyo egizanyiddwa.
 Omuwendo gw’ensimbi ogukozeseddwa.
 Ebisomooza
 Enteekateeka eyo mumaaso

AMALWALIRO N’AMAKOMERA (CHAPLAINACY MINISTRY)

Akakiiko ke

 Balwadde bameka abakyaliddwa awaka, mu ddwaliro, mu makomera, ne mu buduukulu


bwa police.
 Abantu abatali ba Adventist abateekeddwateekeddwa olw’okufa.
 Abalwadde abakyaliddwa ne bayungibwa ku prime radio olwa pulogulaamu z’enjiri.
 Ssabbiti z’amalwaliro n’amakomera.
 Ababatizibwa okuyita mu pulogulamu eno.
 Okuyigiriza abantu enkwata y’abantu ey’omwoyo awamu n’ekisawo.
 Okutendeka ba memba okuweereza abantu ab’enjigiriza endala, nga bali ku bitanda
byabwe, okusaba okwa mangu mu kaseera akakatyabaga.
 Okutendeka ba memba obukodyo obw’okubudabuda obw’omwoyo.
 Ebisomoza
 Enteekateeka yo mumaaso

EB’EBYUUMA (PUBLIC ADDRESS SYSTEM)

Akakiiko ke
12
 Ebintu byonna byalina mu bujjuvu.
 Ebyuuma bikola bitya
 Embeera y’amasanyalaze mu kkanisa, wiring, okuddaabiriza, amataala n’ebirala.
 Byakoze n’ebisomooza.

GWAMASANYU N’EBITUGATTA /SOCIAL AND WELFARE

Akakiiko ke

 Ebintu eby’omubulamu obwa bulijjo ebigabiddwa ebweeru w’ekkanisa.


 Abalwadde abakyaliddwa mu kkanisa n’ebweeru.
 Bulungi bwansi akoleddwa, okulongoosa amayumba, enzizi, engudo, okuyamba
abakadde, abanafu, abalwadde, ebikoleddwa.
 Enaku z’okutabagana, oba okusanyukamu.
 Ebisomoza
 Enteekateeka yo mumaaso

Bisobola okwongerwako okusinzira ku bunene bw’ ekkanisa

13

You might also like