You are on page 1of 14

BRIDAL ENTOURAGE

Bridegroom: Daniel Mwesigwa


Bride: Justine Nakiridde
Bestman: John Kukkiriza
Maid of Honour: Racheal Kukkiriza
Bridesmaids: Elizabeth Owomugisha
Daisy Mirembe
Faith Nantume
Groomsmen: James Musaasizi
Vienney Mbaziira
Flower Girl: Kirabo Caroline

Main Celebrant: Ven.Canon Benon Kityo

Church: St. Paul’s Cathedral Namirembe

Date: 16th November 2019

Time: 1100HRS

Choir: Cathedral Choirs

1
Omugole Omusajja ng’ayingira:
(Hymn) Bring to the Lord a brand new song

Omugole Omukyala ng’ayingira:


Special Song by Esther Katimbo

(Abagole nga bayimiridde mu maaso g’omukadde)


Omukadde: Abaagalwa ennyo, tukungaanidde wano mu
maaso ga Katonda, ne mu maaso g’ekibiina kino, okugatta
awamu Omusajja ono Daniel Mwesigwa n’Omukazi ono
Justine Nakiridde mu kufumbiriganwa okutukuvu.
Kye kigambo eky’ekitiibwa, Katonda kye yalagira abantu
nga tebannaba kwonoona, ekitulaga okugattibwa kwa Kristo
n’Ekkanisa ye okw’omwoyo.

Ekigambo kino ekitukuvu Kristo yakisiima, era yakissaamu


ekitiibwa bwe yali mu Kaana eky’Eggaliraaya, gye
yasookera okukola eky’amagero; ekigambo kino Paulo
Omutukuvu yakisiima nga kya kitiibwa eri abantu bonna;
era kyekiva kigwaanira omuntu obutakikwaata nga tamaze
kulowooza, ng’akyanguyiriza olw’okwegomba obwegombi
okw’omubiri, naye akikwate ng’atya, ng’alowooza,
ng’ateesezza bulungi, nga yeegendereza, ng’atya Katonda;
bw’ategeera okufumbiriganwa kyekwava kulagirwa.

2
Eky’olubereberye: Kwaalagirwa bombi babeere wamu
basanyusaganenga, babeeraganenga nga bwe kibagwanira
bombi mu bulungi ne mu bubi.

Eky’okubiri: Kwalagirwa, abaana bazaalibwenga,


bagunjulirwenga mu kutya Katonda, erinnya lye ettukuvu
litenderezebwe.

Ekyokusatu: Kwalagirwa, okuwonya obwenzi, abantu


abatayinza kubeerera awo, bawasenga/bafumbirwenga
beegenderezenga ng’ebitundu ebirongoofu eby’omubiri gwa
Kristo. Kale oba nga waliwo omuntu yenna amanyi ensonga
ey’amazima elobera Daniel ne Justine okugattibwa awamu,
agyatule kaakano, oba oluvanyuma asirike busirisi ennaku
zonna.

Omukadde:
Mbagamba era mbalagira mmwe mwembi, nga bwe
muliddamu ku lunaku olw’entiisa olw’omusango ebigambo
eby’ekyaama eby’omu mitima gyonna lwe birirabika. Omu
ku mmwe oba ng’amanyi ensonga yonna ebalobera
okugattibwa obulungi mu kufumbiriganwa, agyatule
kaakano. Kubanga mutegeerere ddala nti abantu abagattibwa
ng’ekigambo kya Katonda bwe kitalagira tebagattibwa
Katonda, n’okufumbiriganwa kwaabwe kuba kwa nsobi.

OKULAYIZA ABAGOLE

Omukadde:
Daniel onoowasa omukazi ono Justine okuba mukazi wo,
okubeera naye nga Katonda bweyalagira
mukufumbiriganwa okutukuvu? Onoomwagalanga,
onoomusanyusanga, onoomussangamu ekitiibwa,
onoomukuumanga nga mulwadde era nga mulamu;
onoolekanga abakazi bonna abalala, n’obeera naye yekka,
ennaku zonna ze mulimala nga muli mwembi?

Daniel: Naakolanga bwe ntyo

Omukadde:

Justine onoofumbirwa omusajja ono Daniel okuba


musajjawo, okubeera naye nga Katonda bweyalagira mu
kufumbiriganwa okutukuvu? Onoomwagalanga,
onoomusanyusanga, onoomusangamu ekitiibwa,
onoomukuumanga nga mulwadde era nga mulamu;
onoolekanga abasajja abalala bonna, n’obeera naye yekka,
ennaku zonna ze mulimala nga muli balamu mwembi?

Justine: Naakolanga bwe ntyo

Omukadde: Ani agabye omukazi ono Justine okufumbirwa


omusajja ono Daniel
Omuko:

OKUGATTA
Nze Daniel Mwesigwa nkuwasa ggwe Justine N okuba
mukazi wange gwempasizza, okubeera naawe okusooka
leero, mu bubi ne mu bulungi, mu bugagga ne mu bwavu,
mu bulwadde ne mu bulamu, Justine nja kukwagalanga, nja
kkukuumanga, okutuusa okufa, lwe kulitwawukanya, nga
Katonda bweyalagira. Era nkulayiridde bwentyo.

Nze Justine N nkufumbirwa ggwe Daniel Mwesigwa okuba


baze wange gwe nfumbidwa, okubeera naawe okusooka
leero, mu bubi ne mu bulungi, mu bugagga ne mu bwavu,
mu bulwadde ne mu bulamu, Daniel nja kukwagalanga, nja
kkukuumanga, nja kukuwuliranga okutuusa okufa lwe
kulitwawukanya, nga Katonda bweyalagira. Era nkulayiridde
bwentyo.

OKUSABIRA N’OKUNAANIKA EMPETA

Omukadde: Owe omukisa empeta eno, ayi MUkama


ow’ekisa era owe abaweereza bo bano ebabeerere akabonero
era omujulirwa n’omusingo gw’okwagalana kwaabwe
okutukuvu okutaggwaawo; mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Amiina

Daniel: Justine nkuwasa n’empeta eno, nkussaamu


ekitiibwa n’omubiri gwange, nkuwa ebintu byange byonna
eby’omu nsi, n’okwagala kwange kwonna, mu linnya
Kitaffe, n’Omwana, n’Omwoyo
Omutukuvu. Amiina

Justine: Daniel nkufumbirwa n’empeta eno, nkussaamu


ekitiibwa n’omubiri gwange, nkuwa ebintu byange byonna
eby’omu nsi, n’okwagala kwange kwonna, mu linnya lya
Kitaffe, n’Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Amiina

Bafukamira

Omukadde:
Ayi Katonda ow’emirembe egitaggwaawo, Omutonzi era
omukuumi w’abantu bonna, agaba ekisa kyonna,
eky’Omwoyo, olukolo
lw’obulamu obutaggwaawo, obawe omukisa gwo abaddu bo
bano Daniel ne Justine, be tuwa omukisa mu linnya lyo: nga
Isaaka ne Lebbeka bwe babeera awamu nga beesigwa, bwe
batyo na bano, batuukirize era bakwatire ddala endagaano
gye balagaanye, gye balayidde empeta eno eweeredwa
n’ekkirizibwa, ye mujulirwa, era ke kabonero kayo babeere
ennaku zonna mu kwagalana okutukuvu n’emirembe
bakwate empisa zewalagira; ku bwa Yesu Kristo Mukama
waffe. Amiina.
Nga bakyafukamidde, Omukadde n’agatta wamu emikono
gyaabwe egya ddyo ng’ayogera nti:

Omukadde: Katonda be yagatta wamu, omuntu yenna


tabaawukanyanga.

Kubanga Daniel ne Justine bakkirizza okufumbiriganwa mu


bufumbo obutukuvu, era bategeezezza bwe batyo mu maaso
ga Katonda n’ekibiina kino, era balayiraganye bwebatyo era
balaze bwe batyo n’okuwa n’okutoola empeta,
n’okukwatagana awamu mu mikono; mboogerako nti bano
ye musajja n’omukazi awamu
abafumbiriganye, mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana;
n’Omwoyo Omutukuvu. Amiina.

Katonda Kitaffe, Katonda Omwana, Katonda Omwoyo


Omutukuvu, abawe omukisa, abawonye, abakuume,
Mukama abasaasire, abatunuulire n’ekisa kye; abajjuze
bw’atyo n’omukisa gwonna
ogw’Omwoyo n’ekisa, mubeerenga bwe mutyo wamu mu
bulamu
obwa kakaano. Ne mu biro ebigenda okujja mubeere
n’obulamu obutaggwaawo. Amiina.

ABAGOLE NGA BATULA


Ekitundu Ekisooka: Oluberyeberye 2 : 18 - 25

Zabbuli: 121 ne 122 (Abayimbi bokka)

Ekitundu Ekyokubiri: Abaefeso 5: 22 - 33

Anthem: “ The Lord hath been mindful of us and he shall bless


us ” S.S. Wesley

OKUBUULIRA: Very Rev. Benon Kityo

EBIRABO:

Oluyimba: Weebaze ggwe emmeeme yange


Oluyimba: Okwagala okutaggwaawo
Oluyimba: Ggw’ekibuga kya Katonda

Abagole awamu na bazadde bagenda okwebaza ku


mmeeza entukuvu
Oluyimba: Yesu Lwazzi olunywevu.

OKUSABA OKW’OKWEBAZA.
Omukadde: Ayi Mukama, otuddiremu.
Okuddamu: Ayi Kristo, otuddiremu.
Omukadde: Ayi Mukama, otuddiremu

Omukadde: Ayi Mukama, lokola omuddu wo n’omuzaana


wo.
Okuddamu: Abakwesiga ggwe
Omukadde: Ayi Mukama, obaweereze okubeerwa okuva
mu kifo kyo ekitukuvu
Okuddamu: Obakuumenga ennaku zonna.
Omukadde: Beera ekigo kyabwe ekinywevu
Okuddamu: Mu maaso b’abalabe baabwe
Omukadde: Ayi Mukama, wulira okusaba kwaffe.
Okuddamu: Okukoowoola kwaffe kutuuke gy’oli.

Omukadde:Ayi Katonda Kitaffe ow’omu ggulu, obawe


omukisa abaddu bo bano, osige ensigo ey’obulamu
obutaggwaawo mu mitima gyabwe, byonna bye
banaayiganga obulungi mu kigambo kyo ekitukuvu,
babituukirizenga ddala mu bikolwa byabwe. Ayi Mukama,
obawe omukisa.

Era nga bwe wawa omukisa Ibulayimu ne Ssaala


n’obasanyusa nnyo, kkiriza okubawa bw’otyo abaddu bo
bano omukisa gweo, bawulirenga by’olagira, batuule
emirembe mu mukono gwo, babeere mu kwagala kwo
ennaku zaabwe zonna; kubwa Yesu Kristo Mukama waffe.
Amiina.

Ayi Mukama, ow’ekisa, Kitaffe ow’omu ggulu, ayaza


abantu olw’omukisa gwo; tukwegayiridde okubeera
no’omukisa gwo abantu bano bombi, bazaale abaana,
bawangaalire wamu mu kwagalana okuva eri ggwe ne mu
kwegendereza bwe bati, bagunjulenga abaana baabwe nga
abakristaayo mu mpisa ennungi; erinnya lyo litenderezebwe,
ligulumizibwe; ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Amiina
Ayi Katonda eyatuyigiriza nga kya muzizo okwawukanya
abo gwe be wagatta awamu mu kufumbiriganwa okutukuvu
era eyatukuza okufumbiriganwa okuba ekyama ekirungi,
n’okulaga n’olaga bw’otyo mu kifaananyi okufumbiriganwa
okw’omu mwoyo n’okukkaanya kwa Kristo n’ekkanisa ye
bwe kuli; tunuulira abaddu bo bano n’okusaasira, onusajja
ono ayagalenga mukazi we, nga ekigambo kyo bwe kiri, nga
Kristo bew yayagala omugole we, ye ekkanisa, ne yeewaayo
ku lwayo, ng’agyagala ng’agikuuma ng’omubiri gwe, era
n’omukazi ono abeerenga n’okwagala n’ekisa, n’obwesigwa,
awulirenga bbaawe; agobererenga abakazi abatukuvu
abaatyanga Katonda mu kwegendereza, ne mu bukkakaamu,
ne mu mirembe, basikire obwakabbaka bwo
obutaliggwaawo; ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.
Amiina.

Ayi Katonda ayinza byonna, oluberyeberye eyatonda


bajjajja baffe Adamu ne Kaawa, eyabatukuza n’obagatta
wamu mu kufumbiriganwa; abafukeko obugagga olw’ekisa
kye, abatukuze, abawe omukisa.

Mulyoke mumusanyuse n’omubiri n’omwoyo,mubeere


wamu mu kwagalana okutukuvu ennaku ez’obulamu
bwammwe. Amiina.

Mukama atuwe omukisa atukuume. Mukama atwakize


omusana ogw’omu maaso ge, atuwe emirembe kaakano
n’emirembe gyonna. Amiina.

EBY’OKUSSA EKIMU OKUTUKUVU (Ekitundu


ekyokubiri)

Omukadde: Mukama abeeere nammwe;


Okuddamu: Abeere n’omwoyo gwo
Omukadde: Muyimuse emitima gyammwe;
Okuddamu: Tugiyimuse eri Mukama.
Omukadde: Tweyanza Mukama Katonda;
Okuddamu: Okukola bwe kutyo Kulungi, kusaana.
Kirungi, Kisaana nnyo, kitugwaniride ddala okukweyanza
ebiro byonna ne mu bifo byonna, Ayi Mukama, Kitaffe
Omtukuvu, Katonda Ayinza byonna ataggwaawo.

NAFFE awamu ne Bamalayika abakulu awamu ne Bajjajja


ne Banabbi, Abatume n’Abajulirwa era n’Ekibiina eky’omu
ggulu ekitukuvu kyonna, kyetuva tusuuta, tugulumiza
erinnya lyo ery’ekitiibwa; nga tukutendereza obutamala, nga
tugamba nti;

Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama


Katonda ow’eggye, eggulu n’ensi bijjudde ekitiibwa kyo;
Oweebwe ekitiibwa, Ayi Mukama, ali waggulu ennyo.

OKWAWULA OMUGAATI N’ENVIINYO

Ekitiibwa kyonna n’okwebaza bibeere gy’oli, Ayi Katonda


Ayinza byonna Kitaffe ow’omu ggulu, kubanga ggwe mu
kisa kyo ekitayogerekeka wawaayo Omwana wo omu yekka
Yesu Kristo okutwaala obuzaaliranwa bwaffe, n’okufiira ku
musaalaba olw’okutunula; kwe yaweera omulundi ogumu
ssadaaka emu ennamba, entuufu, etabulako, eyamalira ddala
okutangirira ebibi by’ensi zonna n’okubiggyawo;
n’ateekawo ekijjukizo eky’okufa kwe okw’omuwendo
ekitaliggwaawo okutuusa lw’alikomawo, n’alagira mu Njiri
ye entukuvu okukikwatanga, Ayi Kitaffe ow’ekisa,
tukwegayiridde n’obuwombeefu otuwulire; otuwe ffe bwe
tunaatoola ebitonde byo bino, Omugaati n’Enviinyo,
Omwana wo Omulokozi waffe Yesu Kristo nga bwe
yalagira, nga tujjukira okufa kwe, bwe baamutta, tugabirwe
Omubiri gwe ogulina omukisa omungi n’Omusaayi gwe.
Ekiro kiri kye baamuliramu olukwe yaddira Omugaati; bwe
yamala okwebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira
Abayigirizwa be, n’abagamba nti Mutoole, mulye, guno gwe
Mubiri gwange oguweereddwayo ku lwammwe;mukolenga
bwe mutyo okujjukira nze. Era bwe baamala okulya n’addira
bw’atyo ekikompe; bwe yamala okwebaza, n’abagabira,
n’agamba nti Munywe mwenna ku eno; kubanga eno gwe
Musaayi gwange ogw’endagaano empya, oguyiise ku
lwammwe ne ku lw’abantu abangi, okuggyawo ebibi;
Mukolenga bwe mutyo, buli lwe munaagunywangako
okujjukira nze.
Ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga fenna tugabana
omugaati gumu
EMIREMBE GYA MUKAMA WAFFE GIBEERENGA

NAMMWE BULIJJO

Naawe gibeere naawe bulijjo


OLWEKYO, Ayi Mukama Kitaffe ow’omuggulu, okusinziira ku
kulagira Omwana wo omwagalwa Omulokozi waffe Yesu Kristo, ffe
abaana bo abawombefu nga tujjukira okubonaabona kwe n’okufa kwe
okw’omuwendo, okuzuukira kwe okw’amaanyi, n’okulinnya mu ggulu
okw’ekitiibwa, bwe tutyo twebaza nnyo nnyini olw’ebirungi bye bye
tufuna mu ngalo ze; era nga tutunuulira okujja kwe nate n’amaanyi
n’ekitiibwa ekingi, tuwaayo wano mu kitiibwa ky’Obwakatonda bwo
Omugaati guno Omutukuvu ogw’obulamu obutaggwaawo; era
n’ekikompe kino eky’Obulokozi obutaggwaawo era tukwegayirira
nnyo nnyini n’obuwombeefu okufuka Omwoyo gwo Omutukuvu ku
ffe era ne birabo byo bino, era fenna abanaatoola Okusseekimu kuno
Okutukuvu tusaanyizibwe Omubiri n’Omusaayi eby’Omwana wo, era
tujjuzibwe n’ekisa kyo n’emikisa gyo egiva mu ggulu. Amiina.

OKUSEMBERA
AYI MUKAMA ow’ekisa tetwangaanga kusembera awali Emmeeza
yo eno nga twesiga obutuukirivu bwaffe, wabula okusaasira kwo
okunene okungi. Tetusaanira na kukungaanya bukunkumuka obuli
wansi w’Emmeeza yo. Naye ggwe Mukama atajjululajjulula alina
ekisa bulijjo n’ebiro byonna; Ayi Mukama omuli ekisa, tuwe ekisa
tulye bwe tuti Omubiri gw’Omwana wo omwagalwa Yesu Kristo,
tunywe bwe tuti Omusaayi gwe, emibiri gyaffe egirina ebibi
girongoosebwe Omubiri gwe, n’obulamu bwaffe bunaazibwe
n’Omusaayi gwe ogw’omuwendo omungi ennyo, tubeere mu ye, naye
abeere mu ffe emirembe n’emirembe. Amiina.

Ennyimba ez’okusembera:

A Gaelic blessing by John Rutter

Abagole nga bagenda mu vestry okussa emikono ku


ndagaano zaabwe

1. Lord, for the years your love has kept and


guided,
urged and inspired us, cheered us on our way,
sought us and saved us, pardoned and provided:
Lord of the years, we bring our thanks today.

2. Lord, for that word,


the word of life which fire us,
speaks to our hearts and sets our souls ablaze,
teaches and trains, rebukes us and inspires us:
Lord of the word, receive your people’s praise.

3. Lord, for our land in this our generation,


spirit oppressed by pleasure, wealth and care:
for young and old, for commonwealth and
nation,
Lord of our land, be pleased to hear our prayer,

4. Lord, for our world;


when we disown and doubt him,
loveless in strength, and comfortless in pain,
hungry and helpless, lost indeed without him:
Lord of the world, we pray that Christ may
reign.

5. Lord for ourselves; in living power remake


us-
self on the cross and Christ upon the throne,
past put behind us, for the future take us:
Lord of our lives, to lives for Christ alone.

Organ Music
Abagole nga bava mu vestry
“Halelujah Chorus” by G.F. Handel

ABAGOLE BAKWASIBWA MARRIAGE


CERTIFICATE
Abagole nga bafuluma

‘Toccata in F Major by Widor’s

You might also like