You are on page 1of 2

ESSOMO I

Laba embeerera alizaala

Bye tusoma mu kitabo kya yisaaya Omulanzi (7, 10-14)

Mu budde buli omukama katonda yagamba Akazi nti, weesabire eri omukama katonda wo akabonero,
oba kakuviire emagombe oba waggulu ku ggulu. Akazi n’addamu nti, nedda, sijja kukema katonda. Awo
n’agamba nti kati nno wulira, ggwe Enju ya Daudi bw’okema abantu tikikumala n’otokema na katonda
wange! Olw’ekyo nno Omukama alikuwa akabonero. Ke kano Omuwala embeerera aliba olubuto,
alizaala omwana wa bulenzi, n’amutuuma erinya Emmanueli. Ebyo Omukama y’abyogera.

OLUYIMBA OLW’OKWEBUULIRIRA: Zab 23, 1-2, 3-4, 5-6

EKIDIBWAMU: Omukama ayingira, yennyini ye kabaka ow’ekitibwa

Ensi ya Mukama na byonna ebigijjuza, enkulungo y’ensi na bonna abagisulama. Anti ye yagizimba ku
nnyanja n’aginyweza ku migga. EKIDD.

Ani alyambuka mu lusozi lw’omukama, yadde aliyimirira mu kifo kye ekitukuvu? Ow’emikono egitalina
musango n’ow’omutima omutukuvu. Atateeka mwoyo gwe ku bitagasa. EKIDD.

Oyo alifuna Omukisa ew’omukama, n’empeera ewa katonda Mulokozi we. Lino lye zzadde
ly’abamunoonya, ery’abanoonya amaaso ga katonda wa yakobo.

ESSOMO II
Yezu kristu wa mu zzadde lya Daudi, Mwana wa katonda.

Bye tusoma mu bbaluwa Paulo Omutume gye yawandiikira ab’e Roma. (1,1-7)

Nze Paulo, Omuddu wa yezu kristu, eyayitibwe ku gw’obutume ne nnondebwa mu ngeri enjawufu,
okubunya evanjiri ya katonda gye yali asuubizizza ng’ayita mu Balanzi be mu biwandiiko ebitukuvu,
eyogera ku mwana we gwe yeefuulira ow’olulyo lwa Daudi mu bw’omuntu, mu butuukirivu bwe yalina
mu mwoyo nga tayinza butaba mwana wa katonda, olw’ekyewuunyo eky’okuzuukira mu bafu.Yezu
kristu Mukama waffe mwe twefunira enneema n’obutume, mu linnya lye amawanga gonna gagondere
okukiriza, mu ago nammwe mwe muli, mmwe yezu kristu be yayita. Y’abo bonna abali e Roma, mikwano
gya katonda, abaayitibwa okuba abatuukirivu, Katonda kitaffe, n’omukama yezu kristu babawe enneema
n’emirembe. Ebyo Omukama y’abyogera.
ORDER OF MASS 4TH SUNDAY OF ADVENT
Entrance MTO 152
Mercy Ayi Mukama Tusasire
Meditation MTO 155
Gospel Acclamation Kilamu
Petitions Tuwanjaga Mukama
Offertory Bibiino ffe tubireeta and MTO 79
Holy Ha ha Mukama
Lamb of God Akaliga ka katonda
Holy Communion MTO 123
Thanks giving Nga muwomedde ebyambalo
2nd Offertory MTO 68
Exit MTO 156

You might also like