You are on page 1of 3

478. AMATENDO G’ABATUUKIRIVU (Fr.

James Kabuye)
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire Ayi Kristu tusaasire
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire

Maria Omutuukirivu, Nnyina Katonda Tusabire


Mikaeli Omutuukirivu Tusabire
Bamalayika ba Katonda Abatuukirivu Mutusabire
Yozefu Omutuukirivu Tusabire
Yoanna Batista Omutuukirivu Tusabire
Petero ne Paulo Abatuukirivu Mutusabire
Andrea Omutuukirivu Tusabire
Yoanna Omutuukirivu Tusabire
Maria Magdalena Omutuukirivu Tusabire
Stefano Omutuukirivu Tusabire
Laurensio Omutuukirivu Tusabire
Inyansio ow’eAntiokia Omutuukirivu Tusabire
Anyense Omutuukirivu Tusabire
Perpertua ne Felista Abatuukirivu Mutusabire
Gregori Omutuukirivu Tusabire
Augustino Omutuukirivu Tusabire
Atanansi Omutuukirivu Tusabire
Basilio Omutuukirivu Tusabire
Martini Omutuukirivu Tusabire
Benedikito Omutuukirivu Tusabire
Fransisko Zaverio Omutuukirivu Tusabire
Fransisko ne Dominiko Abatuukirivu Mutusabire
Yoanna Maria Vianney Omutuukirivu Tusabire
Tereza Omutuukirivu Tusabire
Katalina ow’e Sienna Omutuukirivu Tusabire
Lwanga, Mulumba ne Bannammwe Abatuukirivu Mutusabire

1|Page
Mwenna Abatuukirivu ba Katonda abasajja n’abakazi Mutusabire
Tukwatirwe ekisa Tuwonye ayi Mukama
Buli kabi konna Tuwonye ayi Mukama
Okufa emirembe gyonna Tuwonye ayi Mukama
Olw’okuba weefuula omuntu Tuwonye ayi Mukama
Olw’okutuyiira Mwoyo Mutuukirivu Tuwonye ayi Mukama
Ffe aboonoonyi Tukusaba tuwulire
Klezia wo Omutukuvu, kkiriza omulambike n’okumukuuma, Paapa na bonna abali mu madaala
g’Eklezia, banyweze mu ddiini obakuume Tukusaba tuwulire
Amawanga gonna gawe eddembe n’okussa ekimu Tukusaba tuwulire
Naffe ffennyini tunyweze mu kukuweereza otukuumiremu Tukusaba tuwulire
Bano b’olonze bawe omukisa Tukusaba tuwulire
Bano b’olonze bawe omukisa, obatukuze. . . Tukusaba tuwulire
Bano b’olonze bawe omukisa, obatukuze, obafuule babo Tukusaba tuwulire
Yezu Omwana wa Katonda omulamu Tukusaba tuwulire
Ayi Kristu tuwulire Ayi Kristu tuwulire.
Ayi Kristu tuwulirize Ayi Kristu tuwulirize

2|Page
324. MIREMBE GGWE NNAMASOLE (W.F)
1.Mirembe ggwe Nnamasole,
Muzadde w’Omulokozi;
Mugole waffe Omusaale,
W’abatabaazi ab’oku nsi.

Ekidd: Ayi Maria tuwanjaga;


Tuyambe tutuuke mu ggulu.

2.Ndabirwamu etemagana,
Ayi Bikira Omusaasizi;
Ekitebe ky’amagezi,
Nsibuko y’essanyu lyaffe.

3. Ggwe nnyumba eya zawabu,


Ayi Bikira omutiibwa
Ayi Bikira omwesigwa,
Akubagiza abanaku.

4. Omubeezi w’abakristu,
Ayi Bikira omuyinza
Kabaka w’abanyiikivu,
Tujune ffe abateyinza

5.Kiddukiro ky’aboonoonyi,
Ggwe atuwa enneema zonna
Abaana botuzze gy’Oli,
Tusabire, tukwesiga

3|Page

You might also like