You are on page 1of 10

OKUSIIBA

Mubufunze

BIWANDIKIDDWA
SHEIKH HUSSEIN BBAALE 0703225491

SHEIKH ALI MUSA MUKIIBI 0752801718

2016
‫ﺑﺴ ﻢ ﷲ اﻟﺮﺣ ﻤﻦ اﻟﺮﺣ ﻴ ﻢ‬

EKISIIBO

Amatendo amajjuvu ga Allah eyalaalika okusiiba mu kitabokye ekyekitiibwa Quran,tusaba


ebyengera n’emirembe bidde eri Nabbi waffe Muhammad swalla llaahu alaihi wasallama
ne ba swahababe nabuli yenna eyakkiriza ebyo byeyajja nabyo okutuusiza ddala kulunaku
olwenkomerero.Yagamba Allah ow’ekitiibwa ;

(183 ‫َ )اﻟﺒﻘﺮة‬
‫ُ ﻮن‬
‫َﻘ‬
ّ
‫َﺘ‬
‫ْﺗ‬
‫ُﻢ‬
‫َﻜ‬
ّ
‫َﻠ‬
‫َﻌ‬
‫ْﻟ‬
‫ُﻢ‬
‫ِﻜ‬
‫ْﻠ‬
‫َﺒ‬
‫ْﻗ‬
‫ِﻦ‬
‫َﻣ‬
‫ِ ﻳﻦ‬
‫َﺬ‬
ّ
‫َﻰ اﻟ‬
‫َﻠ‬
‫َﻋ‬
‫ِﺐ‬‫ُﺘ‬
‫َﺎ ﻛ‬
‫َﻤ‬
‫ُﻛ‬
‫َﺎم‬
‫ِﻴ‬
ّ
‫ُ اﻟ ﺼ‬
‫ُﻢ‬
‫ْﻜ‬
‫َﻴ‬
‫َﻠ‬
‫َﻋ‬
‫ِﺐ‬‫ُﺘ‬
‫ُ ﻮا ﻛ‬
‫َﻨ‬
‫َ آﻣ‬
‫ِ ﻳﻦ‬
‫َﺬ‬
ّ
‫َﺎ اﻟ‬
‫ُﻬ‬
ّ
‫َﻳ‬
‫َﺎ أ‬
‫}ﻳ‬

“ABANGE MMWE ABAKKIRIZA MULAALIKIDDWAKO OKUSIIBA NGA


BWEKWALAALIKIBWA KWABO ABAABASOOKAWO MULYOKE MUTYE ALLAH” 2:183

1
EKISIIBO

Okusiiba kukakata kubuli musiraamu yenna alina amagezi n’obusobozi bwokusiiba (nga
talina bulwadde bumulemesa kusiiba, nga tali munsonga z’akikyala “haidh” wadde
omusaayi gwokuzaala “nifaas”, era kikakata kubuli musajja awezezza emyaka egyobukulu
(emyaka kumineetaano “15years” oba nga atuuse okwerooterera), nabwekityo kikakata
kubuli mukyala atuusizza okugenda munsonga za haidh (okwekoona akagere).

Kirungi okukubiriza omwana omuto okusiiba singa tukizuula nti asobola, kimusobozese
okumanyiira ibaada y’okusiiba.

TUTEGEERERA KUKI NTI OMWEZI GWA RAMADHAN GUTUUSE

Tumanya okutuuka kwomwezi gwa Ramadhan n’emu kunsoonga zino ebbiri.

1- Okulaba emboneekerera y’omwezi. naye gulina okuba nga gulabiddwa omusiraamu


gwetwekakasaako amazima nga mukulu ssi nsonga musajja oba mukyala.

2- Okujjuuliriza omwezi gwa Sha-abaan ennaku amakumi asatu(30 days).

Omusiraamu asiiba okutandika nga emmambya entuufu esaze (emmambya ey’okubiri)


okutuusiza ddala enjuba lwegwa.

Omusiraamu alina okusula ne nniya y’okusiiba kukusiiba okwetteekwa “faradha” (naye


sitteekwa okugireeta kukusiiba okwa kyeyagalire “Sunnah”)

EBYONOONA OKUSIIBA.

1- Okwegatta mumbeera ez’obufumbo (ssi nsonga oli mufumbo oba muwuulu). Era
omuntu bwakola ekikolwa ekyo akakatwako okuliwa olunaku olwo n’okuwa
omutango era nga n’omutango ogwo: kwekuta omuddu, bwaba takisobodde asiiba
emyezi ebiri egy’omuddiringanwa nga taliddeemu, nakyo bwaba takisobodde alina
okuliisa ba miskiin nkaaga(60).

2- Okuvaamu amazzi agazaala olwokunyweegera omukyala oba okumukwatirira oba


okwemazisa (musturbation). Naye eyeerooteredde talina musango era taliwa.

3- Okulya n’okunywa nga ogenderedde.Wabula ssinga oba weerabidde okusiibakwo


kuba kutuufu.

4- Okuvaamu omusaayi omungi mungeri y’okulumika oba okugaba omusaayi nakyo

2
kitta okusiiba. okukujjako omusaayi omutono ogwokkukebera oba okuvaamu
omusaayi nga teweeyagalidde nga okufuna ekiwundu ,tekitta kusiiba.

5- Okwekaka okusesema (okwegoga).

WEETEGEREZE;

Ssinga oba ofuna wudhu amazzi negayingira mu mumiro mubutanwa tekitta kusiiba, era
ssinga enfuufu ekuyingira mu ddokooli, oba noolowooza kumbeera z’okwegatta
noovaamu amazzi, oba okwerooterera oba okuvaamu omusaayi omutono, oba
okusesema mubutali bugenderevu okusiibakwo tekwonooneka.

Omuntu bwalya nga alowooza nti obudde obulya bukyaliko nekizuuka nti bwaweddeko
dda, alina okuliwa olunaku olwo.

Ate era ssinga alya mukiro nga abuusabuusa oba emmambya esaze tekyonoona kusiiba
kwe.

Singa omuntu alya obudde bwemisana nga abuusabuusa oba enjuba egudde nekizuuka
nti alidde tennagwa,alina okuliwa olunaku olwo.

ABANTU ABAKKILIZIBWA OKULYA MU KISIIBO (ABATASIIBA)

WEETEGEREZE;

Tekikkirizibwa (kiri haraamu) kumuntu atalina kisonyiyisa okugaana okusiiba


omwezi gwa ramadhan. Naye kyatteekwa okusiibulukuka kubantu bano
wammanga.

1- Omukyala ali munsonga (Haidh)

2- Omukyala akyavaamu omusaayi gwokuzaala (Nifaasi),

Bano bombi balina okuliwa ennaku zebataasiiba bwebaba batukudde.

Kyakyeyagalire (kiri Sunnah) okusiibulukuka kubantu bano wammanga.

1- Omutambuze. Omutambuze akkirizibwa okusiibulukuka yooyo eyaweebwa olukusa


okusala kusswala.

2- Omulwadde. Omulwadde akkirizibwa okusiibulukuka yooyo atidde okufuna obuzibu


kubulamubwe ssinga aba asiibye.

- Kikkirizibwa kumutuuze ssinga afuna olugendo mu lunaku wakati okusiibulikuka.

3
Era nga bwekikkirizibwa kumukyala ow’olubuto nooyo ayonsa okusiibulukuka
ssinga aba atidde okufuna obuzibu ku bulamu bwe oba obwomwanawe.

Abo bonna aboogeddwako waggulu ekibakakatako kuliwa naku zebaalya kyokka.naye


omukyala ow’olubuto nooyo ayonsa bwaba aliwa ayongerako okuliisa omunaku
(miskiin) omu buli lunaku ssinga ensonga yokka eba emugaanye okusiiba kutiiririra
bulamu bwamwana we.

Oyo yenna aba alemereddwa okusiiba olwobukadde oba obulwadde obutasuubirwa


kuwona, alina okuliisa buli lunaku miskiini omu naye tekimukakatako kuliwa.

Singa Ramadhan endala etuuka nga tonnaliwa nnaku zewalya mu Ramadhan eyayita
olwekisonyiyisa nga obulwadde n’ebirala okakatibwako kuliwa buliyi naku zewalya
kwokka.Wabula ssinga oba tewalina kisonyiyisa naye nga wakikola mumbeera
yaakugayaala okakatibwako okuliwa ennaku zewalya nga okwo kwogasse n’okuliisa
buli lunaku miskiini omu buli lunaku.

Omuntu ssinga afa nga yalemererwa okuliwa ennaku zaataasiiba olwekisonyiyisa nga
obulwadde talina musango gwonna. naye ssinga afa nga taziriye ate nga talina
nsonga emulemesa kuliwa naku ezo, abantu be bamuliisiza kubuli lunaku lweyaleka
miskiini omu. Era kiri sunna kubengandaze okumusiibira buli lunaku lweyalagajjalira.

Omuntu ssinga aba tasiibye olwekisonyiyisa ate oluvanyuma nekivaawo nga obudde
bwokusiibulukuka tebunnatuuka, kimukakatako okusiiba ekitundutundu kyolunaku
ekisigaddeyo era kimukakatako okuliwa olunaku olwo. ekyonno kitwaliramu n’abantu
bano wammanga;

-Omuntu asiramuse

-Omukyala avudde munsonga

-Omulwadde ssinga awona,

-Omutambuze ssinga olugendo luggwa.

-Omwana omuto ssinga alaba akabonero k’obukulu.

-omulalu ssinga awona.

NB:

Tekikkrizibwa kusiibirako muntu yenna mu Ramadhan .

4
OKUSIIBA OKWAKYEYAGALIRE (OKWA SUNNA).

Okusiiba okwakyeyagalire okusinga obulungi kwekwo okwa Nabbi Dauda; yasiibanga


olunaku naalya olunaku paka mwaka kuggwako nga akola bwatyo. Oluvannyuma
nekuddirirwa okusiiba olunaku olwebbalaza (Monday) n’olwokuna (Thursday) okwa buli
week, oluvannyuma okusiiba ennaku essatu mu buli mwezi nga n’ezisinga obulungi
okusiibwa zennaku enjeru (13,14,15 mu myezi gyobusiraamu).

Era yali nkola y’amubaka okusiiba ennaku zino wammanga.

- Ekitundutundu ekisinga obunene mumwezi gwa Muharram ne Sha-abaan.

- Olunaku lwa Ashuura (olwekkumi mu mwezi gwa Muharram)

- Olunaku lwa Arafa (olwomwenda mumwezi gwa dhul hajj)

- Ennaku mukaaga mu mwezi gwa shawwaal (sittati)

ENNAKU EZITAMWA OKUSIIBIBWA (MAKRUUH).

- okutongoza omwezi gwa Rajab mukugusiiba.

- Okutongoza olunaku olwejjuma n’olwomukaaga.

- Okusiiba olunaku lwokubuusabuusa (olwamakumi asatu mu mwezi gwa Sha-abaan)

ENNAKU EZAAGAANIBWA OKUSIIBIBWA. (EZIRI HARAAM)

- Okusiiba olunaku lwa Idi (el-fitir ne el adhuha)

- Okusiiba ennaku z’okwanika ennyama (ayyaamu ttashriiq) okujjako kwoyo eyakoze


hijja nga akakatwako okusiiba.

WEETEGEREZE ENSONGA ZINO WAMMANGA.

1- Omuntu yenna akakatibwako okunaaba okugeza nga oyo eyelooteledde, oba


eyegasse mu nsonga z’obufumbo, oba omukyala atukudde, akkirizibwa okulya
daaku nga tannaba kunaaba era okusiiba kwe kuba kutuufu.

5
2- Kikkirizibwa kumukyala okukozesa eddagala erikeereya embeera zaabwe
ez’ekikyala ssinga aba ayagala okusiibira awamu n’abasiraamu nga era
akakasiddwa abasawo abakugu nti eddagala eryo teririna buzibu kubulamuubwe
ebbanga lyonna.

3- Omuntu asiibye bwamira amalusu, tekitta kisiibo kye.

4- Yali nkola ya Nabbi okukeereya daaku n’okwanguyiriza okusiibulukuka. Nabbi


swalla llaahu alaihi wasallama yagamba nti;

“Abantu b’ekibiina kyange tebajja kukoma kubeera nga bali bulungi ebbanga
lyebanaamala nga banguyiriza okusiibulukuka n’okukeereya okulya daaku” Hadith
yayogerwa Imam Ahmad.

5- Kirungi nnyo okusoma edduwa nga osiibulukuka. Yagamba Nabbi swalla llaahu
alaihi wasallama

“Mazima omusiibi alina mukiseera kyokusiibulukuka edduwa etaddizibwayo”


Hadith yayogerwa Ibn Maajah.

Nga neemu kudduwa ezisomebwa nga omuntu asiibulukuka yeeno “DHAHABA AL-
DHAMA-U WABTALLAT AL-URUUQU WATHABATAL AJRU INSHA-ALLAH”

6- Kiri Sunnah okusiibulukukira kuntende embissi, bwoba togifunye osiibulukukire


kunkalu, nayo bwoba togifunye osiibulukukire kumazzi.

7- Kyandibadde kirungi omusiibi neyeewala okukozesa wanja neddagala


eritonnyezebwa mu maaso oba mu matu okusobola okuva munjawukana
z’abamanyi. Naye bwaba nga abyetaaga nga eddagala tekirina buzibu kubikozesa.

8- Kiri sunna kumusiibi okusenya naddala mubiseera byesswala. Naye asaana


yeewale okusenyesa eddagala eriwoomerera eriyinza okumusiibulula.

9- Kyatteekwa kumusiibi okwewala okugeya,olugambo, okulimba n’ebirala ebigwa


mukkowa eryo.Singa omusiibi aba anyiiziddwa oba ovumiddwa kirungi agambe nti;
innii swaa-im “mazima nze nasiibye”. Nabwekityo kimukakatako okukuuma
ebitundu bye ebyomubiri ebirala obutagwa mu byonoono asobole okukuuma
ekisiibo kye nga kirungi. Yagamba omubaka wa Allah swallah llaahu alaihi
wasallama nti;

“oyo yenna ataleka bigambo byabulimba n’okubikolerako Allah talina


kyamwetaagako mukuleka ebyokulyabye n’ebyokunywabye” Bukhari.

10-Kiri sunna mu kiseera ekitali kya Ramadhan kwoyo aba ayitiddwa kukijjulo naye nga

6
yasiibye okusabira oyo abeera amuyise ate bwaba nga teyasiibye bwebaba
bamugabudde alye.

11-Kimanye nti ekiro kya Lailatul qadir, kyekiro ekisinga obulungi ebiro byonna mu
mwaka era kibaawo mu naku ekkumi ezisembayo mu mwezi gwa Ramadhan, ekiro
ekisinga okukisuubirwamu kyekyamakumi abiri mwomusanvu (27th) era omulimu
omulungi ogukoleddwa mukiro ekyo gusinga emirimu egikoleddwa mumyezi lukumi
(1000 months). kale nolwekyo omukkiriza akubirizibwa okulafuubana ennyo mu
Ramadhan naddala munnaku ekkumi ezisembayo era afube nnyo obutayitwako kiro
kyonna okujjako nga ayimiridde naasinza Allah. Kyandibadde kirungi omukkiriza
bwaba asadde tarawiya ne Imam agimaleko naye kubanga bwakikola Allah
amuwandiikako empeera z’akuyimirira kiro kiramba.

12-Omuntu ssinga asiiba olunaku olwa kyeyagalire (sunna) kirungi alumaleko, naye
ssinga aba asazeewo okusiibulukuka nga telunnaggwako takakatibwako kululiwa.

ITIKAAFU

Ekiyitibwa itikaafu, kwekwekuumira kwomusiraamu mu muzikiti ebbanga eggere nga


ekigendererwakye kusiinza Allah.

-Omusiraamu akola itikaafu alina okuba nga alina amagezi,nga mutukuvu (nga talina kizuusi
kinene) era tafuluma mu muzikiti okujjako kunsonga nga yaabuwaze nga okulya, okumala
ekyetaago n’okunaaba okwetteeka .

- Itikaafu efa ssinga omuntu yegatta mumbeera z’obufumbo oba naafuluma mu muzikiti
awatali bwetaavu.

-Kiri Sunnah okutuula itikaafu ekiseera kyonna wooyagalidde naye ate eba Sunnah nkakafu
(sunnatu mu’akkada) mu mwezi gwa Ramadhan naddala munnaku ekkumi ezisembayo.

-Ekiseera ekisembayo okubeera ekitono ennyo ekya itikaafu ebeera ssaawa emu naye
kyandibadde kirungi nootakka wansi walunaku nakiro kyalwo.

-Omukyala takkirizibwa kutuula itikaafu okujjako nga akkiriziddwa omwami we.

-Kiri sunna kumuntu atuula itikaafu okuyitiriza okukola ibaada (ebikolwa nebigambo
ebyokusinza) era yewale ebintu ebyolugayaalo.

Tusaba Allah atugase neebigambo bino nabuli yenna abisoma era akkirize emirimu
jaffe,atusonyiwe ebitusobako nga abantu walhamdu lillaahi rabbil aalamiin.

7
8
EKITABO KINO KIVVUUNUDDWA
-SHEIKH HUSSEIN BBAALE 0703225491

-SHEIKH ALI MUSA MUKIIBI 0752801718

OKUVA MUKITABO EKIYITIBWA TAFSEER AL ASHIRI AL- AWAAKHIR NE AHKAAM TAHUMMU


AL MUSLIMU KUMULYANGO GW’OKUSIIBA.

You might also like