You are on page 1of 5

P360/1

LUGANDA
PAPER 1
Aug, 2017
2 ½ hrs 
Community

UNNASE MOCK EXAMINATIONS


Uganda Advanced Certificate of Education

LUGANDA

(AMATEEKA N’ENKOZESA Y’OLULIMI, OBUWANGWA


N’ABAWANDIISI)

OLUPAPULA OLUSOOKA

ESSAAWA BBIRI N’EKITUNDU

Ebigobererwa

- Olupapula lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu : A, B ne C


- Ekitundu A kya buwaze
- Mu kitundu B, Kola nnamba 2,3 ne 4 oweereddwa eby’okulondako
by’oyagala okuddamu.
- Mu kitundu C ggyamu ekibuuzo kimu (1) ng’okironda mu
bikuweereddwa.

1
Page
Ekitundu A
Ddamu ebibuuzo byonna ebikuweereddwa mu kitundu kino.

1. a) Nnyonnyola ensobi ezikoleddwa mu sentensi zino wammanga.


i) Namata alina emikisa gy’okufuna ensimbi.
ii) Omulimu gwafunye tegumuwa mirembe.
iii) Kyanzi yafa lumbe ki!
iv) Kungulu wannyogoga, munda mubuguma. (obubonero 6)

b) Wa ekigambo ekituufu ekyandikozeseddwa mu kifo ky’ekyo


ekisaziddwako mu sentensi zino wammanga.
i) Mwami Kityo mufumbo.
ii) Tugenda kulambula mbuga ya Katambala e Ggomba.
iii) Empiso ezikozesebwa mu kuluka ebibbo baziseera. (obubonero 3)

c) Ddamu owandiike sentensi ezikuweereddwa ng’ebikolwa ebiyambi


obiggyeemu osaze ku bubonero bw’ebiseera.
i) Tubadde tulya kasooli.
ii) Bajja kulambula e Kabale.
iii) Mwabadde mufumba ki? (obubonero 6)

d) Ebigambo ebisaziddwako mu sentensi zino wammanga bituume


amanya gaabyo aga gulaama.
i) Tumaze kusoma bitabo
ii) Mutyaba ayagala okusoma. (obubonero 2)

e) Ebigambo bino wammanga bikozese mu sentensi nga buli kimu


okifudde erinnya erigwa mu lubu 9:N
i) - tambula
ii) - yambala
iii) - tuula (obubonero 6)
2
Page
f) Saza omusittale ku kigambo oba ennyingo eyimiriddewo ku
lw’ekikuweereddwa mu bukomera.
i) Enva zaateekebwa mu kibya. (Erinnya erikolebwako oluvannyuma)
ii) Ekigwo kikwatika muntu wa mbavu.(Ekifudde ekikolwa mu sentensi
ekigaziye)
iii) Namakaabirye anyumirwa nnyo emboozi.(Ekigambo ekigatte)
(obubonero 3)

g) Ddamu onyumye emboozi ekuweereddwa wammanga ng’okozesa


omuntu owookubiri mu bungi.
“Ffe bwe twamala okulya tetwajjukira kufumbya. Twali ebirowoozo
tubimalidde ku kuzannya. Omukazi yatukuba n’obubina bwaffe ne
bulunguula.” (obubonero 4)
Ekirundu B
Kola nnamba 2,3 ne 4 ng’ogoberera ebikuweereddwa.
Kola 2(a) oba 2(b)
2. a) Nnyonnyola ku bukulu bw’ekibbo mu buwangwa bw’Abaganda.
(obubonero 20)
Oba
b) i) Laga ebivuddeko empisa y’amawemukirano obutatuukirizibwa
ensangi zino. (obubonero 10)
ii) Wa ensonga ezisaanyiza empisa eno obutadibizibwa mu Buganda.
(obubonero 10)

3. a) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bitaano(5) onnyonnyole


amakulu gaabyo agoomunda.
i) Okukuba endekamwoyo
ii) Ensawo okulagula
iii) Okuseka ekimwegeru
iv) Okukola ekintu gadibengalye
v) Okulya ebikalubitaaka
vi) Okulabira abudde mu luggi
vii) Okwetikka omuntu
3
Page

viii) Okwebaka otulo otw’olubandasi (obubonero 5)


3. b) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bitaano(5) obikozese mu
sentensi eziggyayo obulungi amakulu gaabyo.
i) Okumira ku g’ennyanja
ii) Okuba mu kattu
iii) Okufeebya ekintu
iv) Okwanika omuntu
v) Okulya kameenya
vi) Okukiikira omuntu ensingo
vii) Okusuula omuntu omukono
viii) Okuyita kuli (obubonero 10)

4. a) Maliriza engero ttaano(5) ku zikuweereddwa nga bwe zoogerwa.


i) Olunaanoba………………………………………………………………………..
ii) kuzaala kulungi ………………………………………………………………….
iii) Ow’akamwa ke ……………………………………………………………………
iv) …………………………………………………………… ng’eyise ku lwa taba.
v) ………………………………………………………….. takwonoonera kikyo.
vi) ……………………………………………………… bwakoowa awummula.
vii) Nswa emu ………………………………………………………………………
viii) “Osala bitono” ………………………………………………………………….

b) Ku ngero ezikuweereddwa londako ttaano(5) owe buli lumu kye


luyigiriza.
i) Ekisa kitta n’enge etta.
ii) Sserukama mayute, bwe bakwata ku lirye ng’awoloma
iii) Akabimbi akatono kakira ekyosi
iv) Eya nnyinimu teyasa ntamu.
v) Kinywa ky’amaggwa akisiba y’amanya bw’akyetikka
vi) Gayita ku kibi ne gaseka
vii) N’oweemu akoomera
4

viii) Ekirya atabaala ky’ekirya n’asigadd eeka. (obubonero 10)


Page
Ekintudu C
Kola ekibuuzo kimu kyokka ng’okiggya mu nnamba 5, 6 oba 7.
Kola 5(a) oba 5(b)

5. a) Wa ensonga ezikakasa nti ekigendererwa kya Kaswa ekikulu mu


buweereza bwe kyali kya kukulaakulanya Buganda. (Obubonero 20)

Oba
5. b) Okunoonyereza kwa Kaswa ku butiko kuganyulwa kutya omusomi
w’Omuganda n’enswa? (obubonero 20)

Kola 6(a) oba 6(b)


6. a) Emirimu Busuulwa gy’akolera eggwanga, liba bbanja ly’awola
Bannayuganda. Okkaanya otya n’endowooza eno? (obubonero 20)

Oba
b) Ekifaananyi ky’omuzadde abuulirira omuvubuka w’omulembe
Omutebi kyeyolekedde kitya mu bitabo bya Busuulwa?
(obubonero 20)

Kola 7(a) oba 7(b)


7. a) Buli Matovu ky’ali kyeyolekera bulungi mu by’awandiika . Kakasa
endowooza eno. (obubonero 20)

Oba
7. b) Omubala okutambulizibwa Buganda kati gwe gwa, “Buganda ku
ntikko.” Matovu afubye atya okutuukiriza obubaka obugulimu?
(obubonero 20)

**BIKOMYE –WANO**
5
Page

You might also like